bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hosea 12
Hosea 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 13 →
1
Efulayimu agoba mpewo, era olunaku lwonna agoberera empewo ez'ebuvanjuba; tata kwogera bya bulimba na bya bukambwe, era balagaana endagaano n'Obwasuli, ne batwala n'amafuta mu Misiri.
2
Era Mukama alina ky'avunaana Yuda, era alibonereza Yakobo, ng'amakubo ge bwe gali; era alimusasula ng'ebikolwa bye bwe biri.
3
Mu lubuto, yakwata muganda we ku kisinziiro era bwe yakula n'ameggana ne Katonda.
4
Yameggana ne malayika n'awangula, yakaaba amaziga n'anooya ekisa kye. Yasisinkana Katonda e Beseri, era eyo Katonda naayogera naye.
5
Mukama Katonda ow'eggye, Mukama lye linnya lye.
6
Kale gwe ng'oyambibwa Katonda wo, nnyweza okwagala n'obwenkanya, era olindirire ennaku zonna Katonda wo.
7
Omusuubuzi, mu mikono gye nga mulimu minzaani ey'obulimba, ayagala okunyigiriza.
8
Efulayimu ayogedde nti, “Mazima ndi mugagga, nneefunidde ebintu bingi;” naye obugagga bwe bwonna, tebuyinza kuggyawo musango gwe yakola.
9
Naye nze ndi Mukama Katonda wo, okuva mu nsi y'e Misiri; ndiddamu okubasuza mu weema nga ku nnaku ez'embaga ezatekeebwawo.
10
Era n'ayogeranga ne bannabbi, era nze nnaayongeranga okwolesebwa gyebali, era ne mbagereranga engero nga mpita mu bannabbi.
11
Bwe waba nga waliwo obutali butuukirivu mu Gireyaadi, bwonna buliggwaawo; bwe baba nga mu Girugaali bassaddaaka ente ennume, ebyoto byabwe birifuuka ng'entuumu z'amayinja ku mbibiro z'ennimiro.
12
(Yakobo n'addukira mu nsi ya Alamu, era eyo Isiraeri n'aweereza afune omukazi, Isiraeri n'aweereza omuntu omulala, era olw'omukazi n'alunda endiga).
13
Nga ayita mu nnabbi Mukama n'aggya Isiraeri mu Misiri, era ng'ayita mu nnabbi n'amubeezaawo.
14
Efulayimu asunguwazizza nnyo Mukama, omusaayi gwe kyeguliva gusigala ku ye, Mukama alibabonereza olw'okumunyooma.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14