bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hosea 7
Hosea 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
1
Bwe njagala okuwonya Isiraeri, obutali butuukirivu bwa Efulayimu ne bulyoka bulabika, n'ebikolwa ebibi ebya Samaliya; kubanga bakola eby'obulimba, omubbi amenya n'ayingira, n'ekibiina eky'abanyazi banyaga ebweru.
2
Naye tabalowooza nti njijukira emirimu gyabwe emibi, kaakano ebikolwa byabwe bo bibeetoolodde; era biri mu maaso gange.
3
Olw'obubi bwabwe basanyusa kabaka, era basanyusa n'abakungu nga babalimbalimba.
4
Bonna benzi; baliŋŋaanga akabiga akakumibwa omwoki w'emigaati; alekeraawo okuseesa omuliro ng'amaze okugoya obutta okutuusa lwe bunaamala okuzimbulukuka.
5
Ku lunaku lwa kabaka waffe, abakungu beerwaza n'eddalu ery'omwenge; yagolola omukono gwe wamu n'abanyomi.
6
Kubanga okufaanana n'akabiga emitima gyabwe gibuubuuka n'ekiruyi; ekiro kyonna obusungu bwabwe bwaka, ku makya bubuubuuka ne bwaka ng'omuliro.
7
Bonna bookya ng'akabiga, era balya abafuzi baabwe; bakabaka baabwe bonna bagudde, tewali n'omu ku bo ankaabirira.
8
Efulayimu yeetabula mu mawanga; Efulayimu omugaati ogutakyusibwa.
9
Bannaggwanga balidde amaanyi ge, so tamanyi, atobese envi, so tamanyi.
10
Era amalala ga Isiraeri ye mujulirwa gy'ali; era naye tebaddanga eri Mukama Katonda waabwe so tebamunoonyanga, newakubadde ebyo byonna nga bimaze okubaawo.
11
Era Efulayimu aliŋŋaanga ejjiba essirusiru eritalina magezi, bakoowoola Misiri, bagenda eri Obwasuli.
12
Bwe baliba bagenda, ndibasuulira ekitimba kyange; ndibassa wansi ng'ennyonyi ez'omu bbanga, ndibakangavvula olw'ebikolwa byabwe ebibi.
13
Zibasanze, kubanga bawabye okunvaako! okuzikirira kubatuukeko, kubanga banjemedde! nandibanunudde, naye banjogeddeko eby'obulimba.
14
Tebankaabira kuva mu mutima gwabwe, naye bawowogganira ku bitanda byabwe, olw'eŋŋaano n'omwenge, ne banjeemera.
15
Newakubadde nga nnabayigiriza ne nnyweza emikono gyabwe, era naye banteesezzaako obubi.
16
Bakyukira Baali; bali ng'omutego ogulimba: abakungu baabwe baligwa n'ekitala olw'olulimi lwabwe oluvuma, olw'ekyo mulifuuka ekisekererwa mu nsi y'e Misiri.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14