bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hosea 13
Hosea 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 14 →
1
Efulayimu bwe yayogera, abasajja ne bakankana; yagulumizibwa mu Isiraeri, naye nnafuna omusango ogw'okusinza Baali, n'afa.
2
Era kaakano beeyongera bweyongezi okwonoona, n'ebeekolera ebifaananyi ebisaanuuse, ebifaananyi ebikoleddwa n'amagezi mu ffeeza yaabwe, byonna mulimu ogw'omukozi ow'amagezi. Muweeyo ssaddaaka eri bino, bwe boogera, abasajja banywegera ennyana!
3
N'olwekyo kyebaliva babeera nga kalenge ow'oku makya, era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali nkya, baliba ng'ebisusunku embuyaga ez'akazimu bye zifuumuula okubiggya mu gguuliro, era ng'omukka oguyita mu kituli ne gufuluma.
4
Era naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; so naawe tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi mulala okuggyako nze.
5
Yali nze eyakumanyira mu ddungu, mu nsi eyeekyeya;
6
Naye bwe baalya ne bakutta, bwe bajjula, omutima gwabwe ne gwegulumiza; bwe batyo ne banneerabira.
7
Bwentyo ndibeera gyebali ng'empologoma, era ng'engo nditeegera mu kkubo.
8
Ndibagwako ng'eddubu ennyagiddwako abaana baayo, era ndiyuza ne mbikkula amabeere gaabwe, era eyo ndibalya ng'empologoma; ng'ensolo ey'omunsiko bwe yandibataaguddetaagudde.
9
Ndi kuzikirira ggwe, ayi Isiraeri. Ani aliyinza okukuyamba?
10
Kabaka wo nno ali ludda wa, okukulokola; bali ludda wa abafuzi bo, okukulwanirira abo bewayogerangako nti, “Mumpe kabaka n'abafuzi?”
11
Mbawadde bakabaka nga ndiko obusungu, era mbabaggyeeko nga ndiko ekiruyi.
12
Obutali butuukirivu bwa Efulayimu busibiddwa; ekibi kye kiterekeddwa.
13
Obubalagaze bw'omukazi alumwa okuzaala bulimutuukako, ye mwana atalina magezi; kubanga ekiseera kye kituuse aleme okulwa mu kifo omuyita abaana nga bazaalibwa.
14
Ndibanunula eri amaanyi ag'emagombe? Ndibagula okuva eri okufa? Ggwe okufa, ebibonoobono byo biri ludda wa? Ggwe entaana, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? Okusaasira kukwekeddwa okuva mu maaso gange.
15
Newakubadde ng'alina ebibala bingi mu baganda be, nze Mukama ndisindika embuyaga ez'ebuvanjuba zirijja, okuva mu ddungu, n'ekaza enzizi zaabwe, ensulo ye n'eggwaawo, erinyaga eby'obugagga byonna ebisanyusa ebyaterekebwa.
16
Samaliya alibaako omusango, kubanga ajeemedde Katonda we, baligwa n'ekitala, abaana baabwe abawere balitandaggirwa, n'abakazi baabwe abali embuto balibaagibwa.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14