bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hosea 1
Hosea 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 2 →
1
Ekigambo ky'Omukama ne kijjira Ozeya mutabani wa Beeri mu mirembe gya Wuzziya, Yotamu, Akazi ne Kezekiya bakabaka ba Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowamu mutabani wa Yowasi kabaka wa Yisirayeli.
2
Omukama bwe yasooka okwogera ne Ozeya, yamugamba nti: “Genda, owase omukazi malaaya, azaale n'abaana mu bwamalaaya, kubanga ensi ekoze obwamalaaya bw'etebadde neesigwa eri Omukama.”
3
N'agenda n'awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, n'aba olubuto n'amuzaalira omwana mulenzi.
4
Omukama n'amugamba nti: “Mutuume erinnya lye Yezureeli, kubanga wanaayita akabanga katono ne mbonereza ennyumba ya Yewu olw'okusanjaga okwali e Yezureeli, nkomye n'obwakabaka bwa Yisirayeli.
5
Ate mu lunaku olwo ndimenya omutego gwa Yisirayeli ogw'akasaale mu kiwonvu kya Yezureeli.”
6
Gomeri yaddamu n'aba olubuto, n'azaala omwana muwala; Omukama n'agamba Ozeya nti: “Mutuume erinnya lye Lo-Rukama kubanga sikyaddayo kusaasira nnyumba ya Yisirayeli, mbu mbaddiremu.
7
Naye ndiraga ekisa ennyumba ya Yuda; ndibalokola, naye si na musaale, oba na kitala, oba na lutalo, oba na mbalaasi yadde beebagazi, wabula na Mukama Katonda waabwe.”
8
Bwe yaggya Lo-Rukama ku mabeere, era n'aba olubuto, n'azaala omwana mulenzi.
9
Omukama n'amugamba nti: “Mutuume erinnya lye Lo-Ammi, kubanga mmwe temuli bantu bange, nange mundaba ng'atali wammwe.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14