bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hosea 13
Hosea 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 14 →
1
Efurayimu bwe yayogeranga, abantu nga bakankana; yagulumizibwanga mu Yisirayeli; naye yazza omusango ng'asinza Baali n'afa.
2
Ate kati bongera kukola bibi, beekolera ebifaananyi bya balubaale ebisaanuuse mu ffeeza waabwe, ebifaananyi bya balubaale bye bakoze n'obukugu; byonna wamu omukozi y'abikoze. Bagamba nti: “Bino bye muba mutambirira!” Abantu ne banywegera obuyana.
3
N'olw'ekyo baliba ng'olufu lw'oku makya, ng'omusulo ogukeera okuggwaawo, ng'ebisusunku ebikuŋŋunsibwa okuva mu gguuliro, ng'omukka ogufulumira mu ddirisa.
4
“Nze Mukama Katonda wo okuva lwe wali mu nsi y'e Misiri, tewamanyaayo Katonda mulala okuggyako nze; tewaali abawonya mulala okuggyako nze.
5
Nze nakuliisa mu ddungu, mu nsi ey'ekyeya ekyokya.
6
Bwe nabaliisa mu malundiro, bakkuta, bwe bakkuta ne beewanika, olwo ne banneerabira.
7
Nange nzija kubabeerera ng'empologoma, nzija kubateega ku kkubo ng'engo;
8
nzija kubabuukira ng'eddubu erinyagiddwako obwana bwalyo, nzija kubataagula ebifuba byabwe, nzija kubakavvula ng'empologoma, ensolo ey'ettale ejja kubayuzaamu wabiri.
9
“Yisirayeli, ozikiridde! Sso nno nze nandikuyambye.
10
Kabaka wo aluwa akuwonye? Abakungu bo baluwa mu bibuga byo byonna, abo be wayogerako nti: ‘Mpa kabaka n'abakungu’?
11
Mu busungu nakuwa kabaka, mu bunyiivu ne mmuggyawo.
12
“Omusango gwa Efurayimu guzingiddwa wamu, ekibi kye kiterekeddwa.
13
Okulumwa kw'omukazi ng'azaala kumujjira, naye mwana omutali magezi; akaseera nga katuuse, talisembera ku mulyango gwa lubuto.
14
Ndibanunula mu mikono gy'emagombe. Walumbe, ekikato kyo kiruwa? Magombe, okuzikiriza kwo kuluwa? Ekisa kya kukisibwa amaaso gange.
15
Efurayimu ne bw'aliyala mu baganda be, empewo y'ebuvanjuba erifuuwa, omukka gw'Omukama gulifuuwa okuva mu ddungu, ne gukaza ensulo ze, ne gukaliza enzizi ze; gulireka eggwanika lye nga gulinyazeemu buli kya bugagga.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14