bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hosea 10
Hosea 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 11 →
1
Yisirayeli yali muzabbibu oguggumizza, nga gubala ebibala byagwo; ebibala bye gye byakomya okweyongera, gye yakomya okuzimba emyaliiro; ensi gye yakomya obugagga, naye gye yakomya okuyonja empagi za balubaale.
2
Omutima gwabwe mulimba, kati balina okubonerezebwa olw'omusango gwabwe; Omukama alimenyawo emyaliiro gyabwe, alizikiriza empagi za balubaale.
3
Aligamba nti: “Tetukyalina kabaka kubanga tetutya Mukama; ye kabaka anaatukolera ki?”
4
Boogera bwogezi, balayirira bwereere, bakola ndagaano; emisango kwe kwanya ng'omuddo ogw'obutwa mu mpangi y'ennimiro.
5
Ab'e Samariya baliba mu kutya olw'akayana k'e Beti-Aveni; bwe kalibaggyibwako, abantu baayo balikakaabira, wamu ne bakabona baako abakasinza, abajaguliza mu kitiibwa kyako,
6
Kalitwalibwa mu Assuri ng'ekirabo kya kabaka omukulu; Efurayimu aliswala, ne Yisirayeli alisonyiwala olw'ebigendererwa bye.
7
Samariya ne kabaka we balikuluggusibwa ng'akati ku mazzi.
8
Ebifo bya Aveni ebigulumivu, ekibi kya Yisirayeli, birisaanyizibwawo; amaggwa n'amatovu biriduuma ne bibikka emyaliiro; awo baligamba ensozi nti: “Mutubuutikire,” n'obusozi nti: “Mutugwire.”
9
“Okuva mu nnaku za Gibewa, Yisirayeli, okola bibi, era eyo gye wasigala. Olutalo ku baana b'obugwenyufu terulibakwatira mu Gibewa?
10
Nzija kubabonereza; abantu balikuŋŋaana okubalwanyisa, okubabonereza olw'ebibi byabwe eby'emirundi ebiri.
11
“Efurayimu, nnyana ntendeke, eyagala okuwuula; nzija kumwambaza ekikoligo mu nsigo ye ennungi. Efurayimu nzija kumwambaza amatandiiko, Yuda ajja kukabala, Yakobo akube amavuunike.
12
Mwesigire obutuukirivu, mukungule ebibala eby'ekisa n'okwagala; mukabale ebisambu byammwe, kubanga obw'okunoonya Omukama butuuse, okutuusa Omukama lw'anajja abatonnyeseze obutuufu.
13
Naye mmwe mwasiga bugwenyufu, mukungudde bwonoonefu, mulidde ebibala eby'obulimba, kubanga mwesiga ebigaali byammwe n'obungi bw'abatabaazi bammwe.
14
Awo nno akatabanguko k'olutalo kajja kusitukira abantu bo, n'ebigo byo byonna bya kuzikiriza nga Salumani bwe yazikiriza Beti-Arubeli ku lunaku olw'olutalo, bannyina b'abaana lwe baaseseggulwa ku ttaka n'abaana baabwe.
15
Naawe Beteli bwe kirikutuukirira, kubanga obugwenyufu bwo buyitirivu; ku mmambya kabaka wa Yisirayeli alisaanyizibwawo.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14