bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hosea 8
Hosea 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 9 →
1
“Muteeke eŋŋombe ku mimwa. Anti empungu eri waggulu ku nnyumba y'Omukama, kubanga abantu bajeemedde endagaano yange; bamenye etteeka lyange.
2
Bandaajanira nti: ‘Ayi Katonda waffe, ffe Yisirayeli tukumanyi!’
3
“Naye Yisirayeli yakasuka eri ekirungi; omulabe agenda kumuwondera.
4
Bassaawo bakabaka nga tekivudde mu nze; balonda abaami nga simanyi; mu ffeeza waabwe ne zaabu bakolamu bifaananyi bya balubaale, ekinaabaleetera okuzikirira.
5
Mwattu Samariya, akayana ko kakasuke eri; obusungu bwange bubeesererako. Banaatuusa wa okwejaajaamya?
6
Kubanga kaava mu Yisirayeli. Mubazzi bubazzi ye yakakola, sso si Katonda; akayana ka Samariya ka kumenyebwamenyebwa.
7
Kubanga baasiga mpewo, balikungula muyaga; ku kati tekuli kirimba, tekuliva buwunga; kaba kuteekako ŋŋano, abagwira bandigimize.
8
“Yisirayeli bamumize, kati ali mu mawanga ng'ekintu omutali nsa.
9
Kubanga bambuse mu Assuri, bali ng'endogoyi ey'ettale eri yokka; ye Efurayimu yeetunze mu baganzi be.
10
Ne bwe baneetunda mu mawanga, nzija kubakuŋŋaanya; bajja kukogga olw'omugugu gwa kabaka omukulu.
11
Efurayimu ne bw'ayongedde obungi emyaliiro olw'ebibi bye, naye emyaliiro gyennyini gifuuse kyonoono.
12
Ne bwe nandimuwandiikidde amateeka gange ne genkana wa obungi, yandigatunuulidde ng'ekintu ekigwira.
13
Bantambirira ebitambiro, ennyama ne bagirya, naye Omukama tabasanyukira. Kati ajja kujjukira ebyonoono byabwe: bagenda kuddayo mu Misiri.
14
Yisirayeli yeerabidde Eyamukola, n'azimba embiri; ye Yuda ayongera bungi bwa bibuga okuli ebigo. Naye nzija kuteekera ebibuga bye omuliro, ogulisenkenya ebigo bye.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14