bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hosea 2
Hosea 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 3 →
1
“Kyokka abantu ba Yisirayeli mu bungi baliba ng'omusenyu gw'ennyanja, ogutalina kipimo, ogutagenda kubalibwa. Mu kifo we baagambirwanga nti: ‘Temuli bantu bange’, we balibagambira nti: ‘Baana ba Katonda omulamu.’
2
Abantu ba Yuda n'abantu ba Yisirayeli baliddamu okwegatta; balyessizaawo omukulembeze omu, ne bava mu nsi eyo, kubanga olunaku lwa Yezureeli luliba lukulu.
3
“Mugambe baganda bammwe nti: ‘Bantu bange’, ne bannyinammwe nti: ‘Asaasiddwa’.
4
“Muvunaane nnyammwe, mumuvunaane, kubanga ye si mukazi wange, nange siri bba; aggye entunula ye ey'obwamalaaya ku maaso ge, n'obutambuze abuggye mu makkati g'amabeere ge.
5
Sikulwa nga mmwambula ne mmuleka bwereere nga bwe yazaalibwa; ndimufuula ng'eddungu, ndimufuula ng'ensi enkalu, ndimussa ennyonta.
6
N'abaana be sijja kubasaasira, kubanga baana ba bwamalaaya.
7
Kuba nnyabwe yakola obwamalaaya, oyo eyabafuna mu lubuto yakola kya nsonyi. Yagamba nti: ‘Nzija kugenda eri baganzi bange, abampa kye endya ne kye nnywa, ebyoya byange eby'endiga n'engoye eza kitaani, omuzigo gwange n'ekyokunywa kyange.’
8
Kale nno ekkubo lye nzija kulisuulamu emisanvu egy'amaggwa, nzija kumwetoolooza olukomera abulweko w'ayita.
9
Aliwondera baganzi be, naye tagenda kubatuuka; alibanoonya, naye talibazuula; awo aligamba nti: ‘Ka nzireyo eri musajja wange eyasooka, kubanga olwo nali bulungi okusinga bwe ndi kati.’
10
Teyamanya nti nze namuwanga eŋŋano, evviini n'omuzigo; eyamugabuliranga ffeeza ne zaabu, gwe baamalira ku Baali.
11
“Awo nno nzija kwedddiza eŋŋano yange ng'etuuse, n'evviini ensu obudde bwayo nga butuuse; nzija kuggyayo ebyoya by'endiga n'engoye za kitaani ebyange, ebibadde bibikka ku bwereere bwe.
12
Nzija kwanika obugwagwa bwe mu maaso ga baganzi be; tewali alimunzigya mu mikono gyange.
13
Nzija kukomya okujaguza kwe: okw'embaga enkulu, Okuboneka kw'Omwezi, Sabbaato n'embaga ze enkulu eziragiddwa.
14
Nzija kwonoona emizabbibu gye n'emikunyu gye, egyo gye yayogerako nti ‘Eno ye mpeera yange gye bampa’; nzija kubizisa bifuuke nsiko, ensolo z'ettale zibirye.
15
Nzija kumubonereza nga mmulanga ennaku za Baali, lwe yanyookezanga obubaani, ne yeewoomya n'empeta n'amagemo, olwo n'awondera baganzi be, nze ng'anneerabidde,” Omukama y'agamba.
16
“N'olw'ekyo, nzija kumuseemyaseemya, mmutwale mu ddungu, njogere eri omutima gwe.
17
Eyo gye nzija okumuweera emizabbibu gye, n'ekiwonvu kye Akori ndikifuula mulyango ogw'essuubi; eyo gy'alyanukulira nga bwe yayanukulanga mu buvubuka, na luli lwe yava mu Misiri.
18
Ku olwo,” Omukama y'agamba, “olimpita nti: ‘Baze.’ Toliddamu kumpita nti: ‘Baali wange.’
19
Amannya ga Babaali nzija kugaggya ku mumwa gwe; era amannya gaabwe tegaliddamu kukoowoolwa nate.
20
Ku olwo ndikuba endagaano ku lwabwe n'ebisolo by'omu nsiko, n'ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebyewalula eby'oku ttaka; omutego gw'akasaale, ekitala n'olutalo ndibimala mu nsi; ndibawa ne batuula ntende.
21
Nzija kukwogereza obeere wange emirembe gyonna; nzija kukwogereza mu butuukirivu ne mu bulungi, mu kisa era mu kusaasira.
22
Nzija kukwogereza mu bwesigwa, olimanya Omukama.
23
“Ku olwo, ndyanukula eggulu,” Omukama y'agamba, “nalyo ne lyanukula ensi;
24
n'ensi eryanukula eŋŋano, evviini ensu n'omuzigo, nabyo biryanukula Yezureeli.
25
Nzija kumwesimbira mu nsi; ŋŋenda kumusaasira oyo gwe natuuma Lo-Rukama; Lo-Ammi ŋŋenda kumutuuma 'Muli bantu bange', naye aliŋŋamba nti 'Oli Katonda wange'.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14