bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hosea 7
Hosea 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
1
Buli lwe mponya Yisirayeli, ebibi bya Efurayimu bye byeyoleka, n'ekyejo kya Samariya nga kirabika. Bali mu kulimba, ababbi bamenya amayumba, n'ebweru abanyazi babba.
2
Naye tebalikirowoozaako nti nzijukira ebibi byabwe byonna. Ebyonoono byabwe bibeebunguludde, bulijjo biri mu maaso gange.
3
Baasanyusa kabaka n'obugwagwa bwabwe, n'abakungu baabwe ne babasanyusa n'obulimba bwabwe.
4
Bonna bali mu bwenzi, bali ng'akabiga akakume omuliro, omukuumi w'omuliro k'ateetaaga na kuseesamu okuva lw'agoya obutta okutuusa lwe buzimba.
5
Ku lunaku lw'ekijaguzo kya kabaka waffe, abakungu bacamulwa omwenge, n'akwatagana n'abanyoomi emikono.
6
Emitima gyabwe giri ng'akabiga nga bakola enkwe; Obusungu bwabwe bunyooka ekiro kyonna, ku makya ne bubuubuuka ng'ennimi z'omuliro.
7
Bonna bookya ng'akabiga, bakavvula bakabaka baabwe; bonna bakabaka baabwe baagwa, mu bo temuli akoowoola gye ndi.
8
“Efurayimu yeetabika mu b'amawanga; Efurayimu mugaati muvumbike ogutakyusibwa.
9
Abagwira banyuunyunta amaanyi ge, naye ye tamanyi; envi zibamezeemezeeko, naye tamanyi.
10
Okwekuza kwa Yisirayeli kumulumiriza, naye tebadda eri Mukama Katonda waabwe, tebamunoonya olwa bino byonna.
11
Efurayimu ali ng'eggiba ebbuyabuya, eritategeera; olumu bakoowoola Misiri, olulala bakyukira eri Assuri.
12
Bwe baligenda, ŋŋenda kubakasukirako ekitimba kyange; ndibawanulayo ng'ekinyonyi ky'omu bbanga, ndibavunaana olw'obwonoonefu bwabwe.
13
“Zibasanze, kubanga banvaako! Bazikirire, kubanga banjeemera. Nandibanunudde, naye bo bannimba bulimbi.
14
Tebandaajanira nga kibava ku mitima, wabula bawolomera mu bitanda byabwe, beesalaasala olw'eŋŋano n'evviini ensu, naye ku nze bakyukira eri.
15
Nabagunjula, ne ŋŋumya emikono gyabwe, naye nze bandowooleza bibi.
16
Tebakyukira eri Ali Waggulu Ddala; bali ng'omutego gw'akasaale omukyamu; abakugu baabwe balifa kitala, olw'olwetumbu lw'olulimi lwabwe; kino kiribasekereza mu Misiri.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14