bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hosea 11
Hosea 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
1
“Yisirayeli ng'akyali mwana, namwagalanga, nayita mutabani wange okuva mu Misiri.
2
Naye gye nakomya okubakoowoola, gye baakomya okunneesamba; baatambiriranga Baali, ne banyookeza ebifaananyi bya balubaale obubaani.
3
Nze nayigiriza Efurayimu okutambula, nga mmukutte ku mukono, naye tebaamanya nti nze nabawonya.
4
Nabasikiranga ku miguwa gy'okusaasira okw'obuntu, n'enkoba ez'okwagala; ku bo nali ng'oli ayambula ekikoligo mu nsingo yaabwe, ne nkutama gye bali ne mbaliisa.
5
“Tebaliddayo mu Misiri, ne Assuri y'aliba kabaka waabwe, kubanga baagaana okweddamu?
6
Ekitala kiritala mu bibuga byabwe, ne kisaanyaawo ebisiba emiryango gyabwe, ne kibavunjaga olw'enteesa zaabwe.
7
“Abantu bange bamaliridde okunjabulira. Ne bwe balikoowoolera awamu Ali Waggulu Ddala, talibasitula.
8
“Ndikwabulira ntya, ggwe Efurayimu? Ndikuwaayo ntya, Yisirayeli? Nkuyisa ntya nga Aduma? Nkufuula ntya nga Zeboyimu? Omutima gwange gunfuukuuse munda, n'okusaasira kwange kubuguumiridde.
9
Sijja kuta busungu bwange obwesera, sijja kukyuka nzikirize Efurayimu, kubanga nze ndi Katonda, siri muntu, Omutuukirivu mu makkati go. Sijja kujjira mu busungu.
10
“Baligoberera Omukama, aliwuluguma ng'empologoma; bw'aliwuluguma, abaana balijja bakankana okuva ebugwanjuba;
11
bajja kujugumira ng'ebinyonyi okuva mu Misiri, ng'amayiba okuva mu Assuri; ndibatuuza mu nnyumba zaabwe, Omukama y'agamba.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14