bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hosea 4
Hosea 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 5 →
1
Ayi bantu ba Yisirayeli, muwulire ekigambo ky'Omukama, kubanga Omukama abavunaana, mmwe abasula mu nsi; tekyali bwesigwa, teri kisa, mu nsi temukyali na kumanya Katonda;
2
mujjuddemu kuvumirira, bulimba na butemu, bubbi na bwamalaaya, n'okuyiwa omusaayi okw'omudiriŋŋanwa.
3
Olw'okubeera ebyo ensi ewooba, n'abagirimu kwe kuyongobera; ebisolo eby'ettale, ebinyonyi eby'omu bbanga, ssaako ebyennyanja, byonna bifa.
4
“Kyokka tewabaawo muntu avunaana, tewabaawo muntu awaaba; wabula, mmwe bakabona, nze mmwe nvunaana.
5
Osirittuka emisana ttuku, n'abalanzi balisirittuka naawe ekiro, ne nnyoko nzija kumuzikiriza.
6
Abantu bange bazikirira kubanga tebamanyi; kubanga weesammula okumanya, nange nzija kubeemansula nga bakabona bange; kubanga weerabidde etteeka lya Katonda wo, nange nzija kwerabira abaana bo.
7
Gye bakomya okweyongera, gye bakomya okusobya gye ndi; ekitiibwa kyabwe nzija kukifuula ensonyi.
8
Balya ku bibi by'abantu bange, basanyukira mu byonoono byabwe.
9
Bakabona nga bwe baliba, n'abantu bwe baliba; nzija kubabonereza olw'amakubo gaabwe, mbawe ekigya mu bikolwa byabwe.
10
Balirya naye tebalikkuta; balikola obwamalaaya naye tebagenda kwala, kubanga baava ku Mukama, ne beewaayo mu
11
bwamalaaya, n'eri evviini enkulu n'ensu ebimalamu okutegeera.
12
“Abantu bange beebuuza ku balubaale ab'ebiti, era ne baanukulwa ekiti mwe baakolebwa, kubanga omwoyo omwenzi gubawubisizza; ne basuula eri Katonda waabwe okudda mu bwamalaaya.
13
Batambirira ku ntikko z'ensozi, ne bookera obubaani ku busozi, wansi w'emivule, enzibaziba n'emyeramannyo awali ekisiikirize ekirungi. Bwe batyo bawala bammwe bwe bakola obwamalaaya, ne bakaabaana bammwe bwe bakola obwenzi.
14
Naye sijja kubonereza bawala bammwe nga bakoze obwamalaaya, ne bakaabaana bammwe nga bakoze obwenzi, kubanga abasajja bennyini beeseebulula ne bamalaaya, ne batambira wamu ne bamalaaya b'omu biggwa; abantu abatategeera ba kuzikirira.
15
“Oba ggwe, Yisirayeli, okoze obwamalaaya, ka Yuda ye aleme kubeera na musango. Temugenda Gilugali, Temwambuka Beti-Aveni; tolayira nti ‘Mazima Omukama nga mulamu,’
16
Ng'ennyana ey'emputtu, ne Yisirayeli bw'akola emputtu, Omukama anaabalunda atya ng'endiga mu malundiro amagazi?
17
Efurayimu asibye ekinywi n'ebifaananyi bya balubaale; muleke ggwe!
18
Ekinyumu kyabwe eky'okunywa ne bwe kiggwa, bongera bwamalaaya bwabwe mu maaso; ddala abafuzi baabwe basanyukira eby'obugwenyufu.
19
Empewo eribakunguzza n'ebiwaawaatiro byayo, n'ebitambiro byabwe biribaleetera nsonyi nsa.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14