bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hosea 5
Hosea 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 6 →
1
“Bakabona, muwulire kino! Mmwe ennyumba ya Yisirayeli, mutegereze! Nammwe ennyumba ya Kabaka, muwulirize! Kino nkivunaana mmwe: E Mizupa mwafuuka kitimba, n'olutuula olwanjuluziddwa ku Tabori.
2
Basimye obunnya obuwanvu e Sittimu, bonna nzija kubabonereza.
3
Nze Efurayimu mmumanyi, ne Yisirayeli tankwekeddwa; Efurayimu, okoze obwamalaaya; Yisirayeli yeegwagwawazza.
4
Ebikolwa byabwe tebibaganya kudda eri Katonda waabwe; omwoyo omwenzi guli mu mitima gyabwe, n'Omukama tebamumanyi.
5
Okwekuza kwa Yisirayeli kumulumiriza; Yisirayeli ne Efurayimu balisirittuka mu bibi byabwe, ne Yuda alisirittuka wamu nabo.
6
Bwe baligenda okunoonya Omukama n'amagana gaabwe, tebalimuzuula, aliba abeetegudde.
7
Tebaali beesigwa eri Omukama, kubanga baazaala abaana ab'ensonga; kale nno embaga zaabwe ez'Okuboneka kw'Omwezi zijja kubakavvula ko n'ennimiro zaabwe.
8
“Mufuuwe eŋŋombe mu Gibewa n'ekkondeere mu Rama, Mukube enduulu mu Beti-Aveni, mutiisetiise Benyamiini.
9
Ku lunaku olw'ekibonerezo Efurayimu alisigala matongo, mu bika bya Yisirayeli nnangirira ekikakafu.
10
Abakungu ba Yuda bali ng'abo abajjulula ensalo z'ettaka; nzija kubamalirako obusungu bwange ng'omujjuzo gw'amazzi.
11
Efurayimu anyigiriziddwa, abetenteddwa n'ekibonerezo, kubanga yasiima okugoberera obulimba.
12
Efurayimu mmufaananira ng'ennyenje, ennyumba ya Yuda ngifaananira ng'ekintu ekivundu.
13
“Efurayimu bwe yalaba obulwadde bwe, ne Yuda ebbwa lye, Efurayimu n'addukira e Assuri, n'atumira kabaka omukulu; naye nno n'oyo talisobola kubawonya, talisobola kubaggyako bbwa.
14
Kubanga Efurayimu ndimubeerera ng'empologoma, Yuda, ng'omwana gw'empologoma. Nzija kutaagulataagula neetambulire; nzija kukwakkula ntwale, ate tewaliba awonya.
15
“Nzija kweddirayo mu kifo kyange okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe, ne banoonya amaaso gange; mu buyinike bwabwe balinnoonya buteddiza.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14