bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hosea 14
Hosea 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
1
“Samariya wa kubonerezebwa olw'omusango gwe, kubanga baajeemera Katonda waabwe. Balifa ekitala, amabujje gaabwe galiseseggulibwa ku ttaka, ne bakazi baabwe abali embuto balibaagibwa.”
2
Ayi Yisirayeli, dda eri Omukama Katonda wo; ebibi byo byakuleetera okugwa.
3
Mugende n'eby'okwogera eri Omukama; mumugambe nti: “Ggyawo ebibi byaffe byonna; kkiriza ekirungi; tunaakuweereza ebibala by'emimwa gyaffe.
4
Assuri tajja kutulokola, tetujja kwebagala mbalaasi. Tetujja kugamba gwa kubiri nti: ‘balubaale baffe’ ku ebyo emikono gyaffe bye gikoze; kubanga enfuuzi mu ggwe mw'esanga okusaasirwa.”
5
“Nzija kuwonya obujeemu bwabwe; nzija kubaagala nga bwe njagala, kubanga obukambwe bwange bubavuddeko.
6
Yisirayeli nzija kumubeerera nga ssuulwe; alyanya ng'ekimuli ky'eddanga, alisimba emirandira ng'entolookyo z'oku Lebanoni,
7
obutabi bwe obuto bulitojjera. Ekitiibwa kye kiriba ng'eky'omuti gw'oliva, n'akawoowo ng'ak'entolookyo z'oku Lebanoni.
8
Abantu balidda ne batuula mu kittuluze kye; balibala ng'eŋŋano, balyanya ng'emizabbibu, ettutumu lye liriba ng'ery'evviini ya Lebanoni.
9
Efurayimu, ebifaananyi bya balubaale okyabyagaza ki? Nze nkwanukula era nze nkulabirira. Nninga sipulaasi bulijjo aba addugazza, okubala kwo kuva ku nze.”
10
Oyo omugezi, ategeere bino, oyo omulabalaba, abikwate. Kubanga amakubo g'Omukama maluŋŋamu; abatuukirivu be bagatambuliramu, naye abasobya bageesittaliramu.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14