bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Isaiah 10
Isaiah 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 11 →
1
Zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, n'abawandiisi abawandiika ebinyigiriza abantu,
2
ne balemesa abanaku okusalirwa amazima, era ne banyaga abantu bange abaavu ebyabwe, ebya bannamwandu n'eby'abafiiriddwako bakitaabwe ne mu bifuula omunyago gwammwe.
3
Mulikola mutya ku lunaku Mukama lw'aliweerako ekibonerezo? Mulikola mutya lw'alibatuusaako akabi akaliva mu nsi ey'ewala? Muliddukira eri ani okubeerwa? Era mulikweka wa obugagga bwammwe?
4
Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe oba okugwira mu abo abattiddwa. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo naye obusungu bwa Mukama buliba tebunaabavaako, aliba akyagolodde omukono okubabonereza.
5
Ggwe Busuli, oli luga lwe nkwata nga nsunguwadde, omuggo oguli mu ngalo zo, gwe mbonerezesa be nninako ekiruyi.
6
Mutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama, era musindika eri abantu abansunguwazizza, abanyage era atwalire ddala ebyabwe, abasambiririre ddala ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
7
Naye Busuli tagenderera kukola Nze kye njagala, era kino si ky'alowooza, wabula ekiri mu mutima gwe, kwe kuzikiriza n'okusaanyaawo amawanga agawerako.
8
Yeewaana nga agamba nti, “Abaduumizi b'amagye gange bonna tebenkana bakabaka?
9
Ekibuga Kalino tetwakiwangula nga bwe twawangula Kalukemisi? Kamasi tetwakiwangula nga bwe twawangula Alupadi? Samaliya tetwakiwangula nga bwe twawangula Ddamasiko?
10
N'omukono gwange nnafufuggaza ensi za bakabaka ezisinza ebifaananyi ebibajje, ebisinga n'ebyo ebiri mu Yerusaalemi ne mu Samaliya.
11
Sirikola Yerusaalemi n'ebifaananyi byakyo, nga bwenakola Samaliya n'ebifaananyi byakyo?”
12
Awo Mukama bw'aliba ng'amalidde ddala omulimu gwe gwonna ku lusozi Sayuuni ne ku Yerusaalemi, n'alyoka abonereza kabaka w'e Bwasuli, olw'amalala n'okwegulumiza kwe.
13
Kubanga agamba nti, “Bino byonna mbikoze lw'amaanyi gange, lw'amagezi gange, n'abukalabakalaba bwange. Najjulula ensalo ez'amawanga, ne nnyaga obugagga bwago, era ng'omusajja ne ntowaza bakabaka baabwe.
14
Amawanga ag'omu nsi nnasanganga gali ng'ekisu ky'ennyonyi, ne nkuŋŋaanya obugagga bwago ng'akuŋŋaanya amagi agalekeddwa awo, awatali kinyonyi kipapaza kiwaawaatiro kyakyo, wadde okwasamya akamwa kakyo okukaaba okukanga!
15
Embazzi eyinza okwewaana nti yeesiga oyo agitemesa? Omusumeeno guyinza okwegulumiza okusinga oyo agusazisa? Gy'obeera nti oluga luyinza okuwuuba oyo alukozesa, oba omuggo okusitula omuntu.”
16
N'olwekyo Mukama ow'eggye, kyaliva aweereza obulwadde obukozza mu basajja be abalwanyi abamaanyi, era mu kifo ky'ekitiibwa ky'abadde yeemanyi, Mukama alikoleezaawo omuliro ogulimwokya.
17
Mukama oyo omusana gwa Isiraeri, aliba muliro. Katonda Omutukuvu wa Isiraeri, aliba nnimi ez'omuliro, ogulyokya ne gumalawo mu lunaku lumu abo abali ng'amaggwa n'emyeramannyo.
18
Ekitiibwa ky'ekibira kye, n'ennimiro ye engimu, Mukama alibisaanyizaawo ddala, obulamu era n'omubiri, ng'omusajja omulwadde bwaggwerawo ddala.
19
N'emiti egy'omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono, n'omwana omuto ng'ayinza okugibala.
20
Awo olulituuka ku lunaku luli, abaliba nga bafisseewo ku Isiraeri, n'abo abaliba nga bawonye ku nnyumba ya Yakobo, nga tebakyesigama nate ku oyo eyabakuba: naye balyesigama ku Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri, mu mazima.
21
Ekitundu ekirifikkawo, ekirifikkawo ku nnyumba ya Yakobo, kiridda eri Katonda ow'amaanyi.
22
Newaankubadde nga kaakano abantu ba Isiraeri bangi ng'omusenyu ogw'ennyanja, naye kitundu butundu ku bo ekirifikkawo kye kirikomawo: kubanga Katonda yakisalawo bazikirizibwe nga kibasaanidde.
23
Ddala Mukama ow'eggye alireeta okuzikirira mu ggwanga lyonna, nga ye bwe yategeka kibeere wakati mu nsi yonna.
24
N'olwekyo Mukama, Mukama ow'eggye agamba nti, Mmwe abantu bange abatuula mu Sayuuni, temutyanga Asuli, newakubadde ng'akukuba n'oluga, n'akugololera omuggo ng'Abamisiri bwe baabakola.
25
Kubanga akaseera kasigadde katono nnyo, obusungu bwange gyoli bukome, ate obusungu bwange budde ku bo bazikirizibwe.
26
Mukama ow'eggye alibakuba bonna nababonereza, nga bwe yattira Abamidiyaani ku Lwazi lw'e Olebu. Era aligololera omuggo gwe ku nnyanja nga bwe yakola e Misiri.
27
Awo olulituuka ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggibwa ku kibegabega kyo, n'ekikoligo kye kirizikirizibwa okuva mu bulago bwo. Ekikoligo kirikutulwa olw'obugevvu bwo.
28
Laba eggye ly'omulabe lituuse liwambye Yayasi, liyise mu Miguloni, era emigugu gyabwe bagiterese e Mikumasi.
29
Bayisizza awavvuunukirwa; basuze e Geba. Abe Laama bakankana olw'okutya. Abe Gibeya ekya Sawulo badduse.
30
Kaaba n'eddoboozi ery'omwanguka ggwe muwala wa Gallimu! Wulira, ggwe Layisa! Nga zikusanze ggwe Anasosi!
31
Ab'e Madumena badduse, n'ab'omu Gebimu badduse olw'okwewonya.
32
Olwa leero omulabe ajja kusibira e Nobu, alifunya ekikonde nga akyolekeza olusozi lwa muwala wa Sayuuni, olusozi lwa Yerusaalemi.
33
Laba, Mukama, Mukama ow'eggye, alitema amatabi n'entiisa n'abawanvu abawagguufu balitemerwa ddala, n'abagulumivu balikkakkanyizibwa.
34
Mukama alitemera ddala ebisaka by'omu kibira n'embazzi, ne Lebanooni ne miti gyakyo egy'ekitiibwa kirigwa.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66