bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Isaiah 8
Isaiah 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 9 →
1
Mukama n'aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene, okiwandiikeko munnukuta ennene, nti Kya Makeru-salalu-kasubazi.
2
Nange nnaleeta Uliya kabona, ne Zekkaliya mutabani wa Yeberekiya, okuba abajulizi bange okukikakasa.”
3
Awo ne neegatta, nnabbi omukazi, n'aba lubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'aŋŋamba nti, “Mutuume erinnya Makeru-salalu-kasubazi.
4
Kubanga omwana oyo aliba nga tannamanya kuyita nti, Taata oba nti, Maama, obugagga obw'e Ddamasiko, n'ebyo byonna Samaliya bye yanyaga, biriba bitwaliddwa kabaka w'e Bwasuli.”
5
Mukama era n'ayogera nange omulundi omulala n'aŋŋamba nti,
6
“Kubanga abantu bano bagaanyi amazzi g'akagga Sirowa agakulukuta empola, ne basanyukira Lezini ne Peka mutabani wa Lemaliya;
7
kale nno, Nze Mukama nja kuleeta ku bo amazzi amangi ag'amaanyi ag'Omugga, Fulaati, ye kabaka w'e Bwasuli n'ekitiibwa kye kyonna: amazzi ago galisukka ensalosalo zonna, ne ganjaala ku ttale lyonna.
8
Galyeyongera ne gakulukuta okutuuka mu Yuda; galyanjaala ne gasituka ne gakoma mu bulago, ne gatuuka eyo n'eyo, ne gajjuza ensi eyo yonna gy'ekoma obugazi, ggwe Imanueri.”
9
Muyoogaane, mmwe amawanga, naye mulimenyekamenyeka. Mutege amatu, mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala, mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka. Mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka.
10
Muteeseze wamu kye munaakola, naye tekijja kutuukirira, mwogere ekigambo, naye tekijja kuyimirira, kubanga Katonda ali wamu naffe.
11
Mukama yayogera nange bw'atyo mu buyinza bwe obw'amaanyi, n'andabula nneme okutambulira mu kkubo ly'abantu bano, ng'agamba nti,
12
“Ekyo abantu bano kye bayita okwekobana, ggwe tokiyita kwekobana, era totya bye batya, era tokankana.”
13
Naye Mukama ow'eggye, oyo gwe muba mutwala nga omutukuvu, oyo gwe muba mutya, era oyo gwe muba mukankanira.
14
Era alibafuukira ekifo ekitukuvu mwe muliwonera, naye eri ennyumba zombi eza Isiraeri, aliba ejjinja ery'okwesittalwako era olwazi kwe balyekoona ne bagwa, era nelibafuukira omutego n'ekyambika abo bonna abatuula mu Yerusaalemi.
15
Bangi abalyesittala ne bagwa, ne bamenyeka, balitegebwa ne bakwasibwa.
16
Nyweza obujulirwa, ssa envumbo kw'ebyo ebiyigiriziddwa abayigirizwa bange.
17
Nange nnaalindirira Mukama, akwese amaaso ge okuva mu ennyumba ya Yakobo, mu oyo mwe nnina essuubi.
18
Laba, nze n'abaana Mukama b'ampadde tuli bubonero na byewuunyo mu Isiraeri ebiva eri Mukama ow'eggye, atuula ku lusozi Sayuuni.
19
Abantu bwe babagambanga nti, Mubuuze abo abaliko emizimu n'abalaguzi, abakaaba ng'ebinnyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu babibuuza bafu?
20
Amateeka n'obujulirwa! oba nga tebyogera ng'ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
21
Era baliyita mu nsi, nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala: awo olunaatuukanga bwe banaalumwanga enjala, banaanyiiganga ne bakolimira kabaka waabwe ne Katonda waabwe, nga batunudde waggulu,
22
era bwe balitunuula wansi ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, kazigizigi ow'okubonyaabonyezebwa, era baligoberwa mu kizikiza ekikutte.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66