bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Isaiah 22
Isaiah 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 23 →
1
Omugugu ogw'ekiwonvu eky'okwolesebwa. Obadde otya kaakano, n'okulinnya n'olinnya, waggulu ku nnyumba.
2
Ggwe ajjudde okuleekaana, ekibuga eky'oluyoogaano, ekibuga eky'essanyu? ababo abattibwa tebattibwa na kitala, so tebafiiridde mu ntalo.
3
Abakufuga bonna baddukira wamu, bawambiddwa awatali kulwana, bonna abaasangibwa bakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe, newakubadde nga baali baddukira wala.
4
Kyennava njogera nti, “Munveeko, mundeke nkabire ddala nnyo; temutegana kunsanyusa olw'okunyagibwa kw'omuwala w'abantu bange.”
5
Kubanga Mukama ow'eggye alina olunaku olw'akatabanguko, olw'okulinnyiririrwako, era olw'okubuusizabuusizaako, mu kiwonvu eky'okwolesebwa; okumenyamenya bbugwe, n'okukaaba eri ensozi.
6
Eramu ayambalidde omufuko gw'obusaale, wamu n'amagaali ag'abasajja n'abeebagala embalaasi; ne Kiira asabuukulula engabo.
7
Awo olwatuuka ebiwonvu byo ebisinga obulungi ne bijjula amagaali, n'abeebagala embalaasi, ne batassibwa ku miryango.
8
N'aggyawo ekibikka ku Yuda; n'otunuulira ku lunaku luli eby'okulwanyisa ebyali mu nnyumba ey'omu kibira.
9
Ne mulaba ebituli ebyawagulwa mu kibuga kya Dawudi, nga bingi, ne mukuŋŋaanya amazzi ag'ekidiba ekya wansi.
10
Ne mubala ennyumba ez'omu Yerusaalemi, ne mumenya amayumba okunyweza bbugwe.
11
Mwasima ekidiba omuterekebwa amazzi ag'ekidiba eky'edda wakati wa babbugwe bombi, naye ne mutatunuulira oyo eyakisima oba okumussaamu oyo ekitiibwa eyakiteekateeka edda ennyo.
12
Era ku lunaku luli Mukama, Mukama ow'eggye, n'ayita abantu okukaaba n'okukungubaga, n'okumwa ebiwalaata n'okwesiba ebibukutu;
13
era, laba, ssanyu na kujaguza, kutta nte na kutta ndiga, kulya nnyama na kunywa mwenge. “tulye tunywe kubanga enkya tunaafa.”
14
Mukama ow'eggye yeeyakimbikkulira n'enkiwulira nti, “ Mazima obutali butuukirivu buno tebulisonyiyibwa okutuusa lwe mulifa,” bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
15
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye, nti, “Genda eri omuwanika oyo, ye Sebuna, ye mukulu w'ennyumba, omugambe nti,
16
Okola ki wano? Era ani gw'olina wano n'okutuuka n'otuuka okwetemera wano entaana, ng'otema entaana waggulu, nga ogyetemera mu lwazi?
17
Laba, Mukama alikukasuka lwa maanyi gwe omusajja ow'amaanyi; weewaawo, alikunywereza ddala.
18
Talirema kukyuka n'akukasuka ng'omupiira mu nsi engazi; eyo gy'olifiira, era eyo amagaali ag'ekitiibwa kyo gye galibeera, ggwe ensonyi z'ennyumba ya mukama wo.
19
Nange ndikuggya mu bwami bwo, era alikussa okuva mu bukulu bwo.
20
Awo olulituuka ku lunaku luli ndiyita omuddu wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya,
21
era ndimwambaza ekyambalo kyo, ne mmunyweza n'olukoba lwo, era ndimukwasa obuyinza bwo, era aliba kitaabwe w'abo abatuula mu Yerusaalemi n'eri ennyumba ya Yuda.
22
Ndimukwasa era n'aba n'obuyinza ku kisumuluzo ky'ennyumba ya Dawudi, era bw'aliggulawo tewaliba aggalawo, era bw'aliggalawo tewaliba aggulawo.
23
Era ndimukomerera ng'enninga okumunyweza mu kifo kye, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.
24
Ekitiibwa kyonna eky'ennyumba ya kitaawe, kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye okuva ku bukompe okutuuka ku matogero.
25
Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama ow'eggye, enninga eyakomererwa mu kifo okumunyweza mu kifo kye erisimbuka, n'egwa, n'omugugu ogwali ku yo gulisalibwako, ekyo Mukama akyogedde.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66