bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Isaiah 37
Isaiah 37
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 38 →
1
Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n'ayuza engoye ze n'ayambala ebibukutu n'ayingira mu nnyumba ya Mukama.
2
N'atuma Eriyakimu eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi.
3
Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti, “Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kunenyezebwamu era lwa kuvumirwamu: kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye tewali maanyi ga kubazaala.
4
Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake, eyatumibwa kabaka w'e Bwasuli okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n'amunenya olw'ebigambo by'awulidde; kale waayo okusaba olw'e ekitundu ekikyasigaddewo.”
5
Awo abaddu ba kabaka Keezeekiya ne bajja eri Isaaya.
6
Isaaya n'abagamba nti, “Mugambe mukama wammwe nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde, abaddu ba kabaka w'e Bwasuli bye banvumye.
7
Laba, ndimusaamu omwoyo awulire olugambo addeyo mu nsi ye, era eyo gye ndimuttira n'ekitala mu nsi ye.’ ”
8
Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'alwana ne Libuna: kubanga yali awulidde nti avudde e Lakisi.
9
Ate era n'awulira nga boogera nti Tiraka kabaka w'e Kuusi, azze okumulwanyisa. Awo bwe yakiwulira n'atuma ababaka eri Keezeekiya ng'ayogera nti
10
“Mugambe Keezeekiya kabaka wa Yuda nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.
11
Laba, owulidde bakabaka b'e Bwasuli bye baakolanga ensi zonna, nga bazizikiririza ddala, mwe munaawona?
12
Amawanga bakitange ge baazikiriza, Gozani ne Kalani ne Lezefu n'abantu ba Edeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago baagayamba?
13
Ali ludda wa kabaka w'e Kamasi ne kabaka w'e Alupadi ne kabaka w'ekibuga Sefavayimu, ow'e Keena ne Yiva?”
14
Keezeekiya n'aggya ebbaluwa mu mukono gw'ababaka n'agisoma: Keezeekiya n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama n'agyanjululiza mu maaso ga Mukama.
15
Keezeekiya ne yeegayirira Mukama ng'ayogera nti,
16
“ Ayi Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka afuga obwakabaka bwonna obw'omu nsi, ggwe wakola eggulu n'ensi.
17
Tega okutu kwo, ayi Mukama, owulire; zibula amaaso go, ayi Mukama, olabe, owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu, by'aweerezza okuvuma Katonda omulamu.
18
Mazima, Mukama, bakabaka b'e Bwasuli baazisa amawanga gonna n'ensi zaago,
19
ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo za bantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza.
20
Kale nno kaakano, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwe, obwakabaka bwonna obw'omu nsi butegeere nga ggwe Mukama, ggwe wekka.”
21
Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli,
22
kino kye kigambo Mukama ky'ayogedde ku ye: “Omuwala wa Sayuuni atamanyi musajja akunyoomye era akusekeredde. omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyerezza omutwe.
23
Ani gw'ovumye gw'ovvodde? era ani gw'oyimusirizzaako eddoboozi lyo n'omukanulira n'amaaso? Mutukuvu wa Isiraeri.
24
Okozesezza abaddu bo okuvuma Mukama n'oyogera nti N'amagaali gange amangi nnyambuse ku ntikko y'olusozi, ntuuse mu njuyi ez'omunda eza Lebanooni; era nditemera ddala emivule gyako emiwanvu, n'enfugo zaako ezisinga obulungi: era ndituuka ku lusozi lwako olukomererayo, ekibira eky'ennimiro ye engimu.
25
Nsimye enzizi, era nnywedde amazzi, era nnakaliza emigga gyonna egy'e Misiri n'ebigere byange.
26
Towuliranga bwe nnakikola edda ennyo ne nkibumba okuva ebiro eby'edda? kaakano nkituukirizza ggwe okubeera omuzikiriza w'ebibuga ebiriko enkomera obifuule ebifunvu eby'ebyagwa.
27
Abaabituulangamu kyebaava babeera ab'amaanyi amatono, baatekemuka ne bakeŋŋentererwa; ne baba ng'essubi ery'omu nnimiro era ng'omuddo omubisi, ng'omuddo oguli waggulu ku nnyumba, era ng'omusiri gw'eŋŋaano nga tennakula.
28
Naye mmanyi bw'otuula era bw'ofuluma era bw'oyingira era bw'onneesalirako akajegere.
29
Kubanga onneesalirako akajegere era kubanga ettitimbuli lyo lintuuseko, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo n'olukoba lwange mu mimwa gyo, era ndikuzzaayo mu kkubo lye wajjiramu.”
30
Awo Isaaya n'agamba Keezeekiya nti, “Kano ke kabonero gy'oli, mu mwaka guno munaalya eŋŋaano eyeemeza yokka, ne mu mwaka ogwokubiri era eyeemeza yokka. Mu mwaka ogwokusatu mulirya ebyo bye musize, era ne mukungula mu nsuku zammwe ez'emizabbibu.
31
Ekitundu ekisigaddewo ku nnyumba ya Yuda balisimba emirandira wansi ne babala ebibala waggulu.
32
Mu Yerusaalemi mulibamu abalisigalawo, ne ku lusozi Sayuuni walibaayo abaliwona, obumalirivu bwa Mukama ow'eggye bulituukiriza ekyo.
33
Mukama kyava ayogera ku kabaka w'e Bwasuli nti, Talituuka mu kibuga kino, so talirasaayo kasaale, so talikyolekera n'engabo, so talikituumaako kifunvu.
34
Mu kkubo mwe yajjira omwo mw'aliddirayo, so talituuka mu kibuga kino, bw'ayogera Mukama.
35
Kubanga ndirwanirira ekibuga kino okukirokola ku bwange nze era ne ku bw'omuddu wange Dawudi.”
36
Awo malayika wa Mukama n'afuluma n'atta mu lusiisira olw'Abaasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano (185,000). Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo.
37
Awo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'avaayo n'agenda n'addayo, n'abeera e Nineeve.
38
Awo olwatuuka bwe yali ng'asinziza mu kiggwa kya Nisuloki katonda we, Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n'ekitala, ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n'amuddira mu bigere.
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 38 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66