bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Isaiah 7
Isaiah 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 8 →
1
Awo olwatuuka, Akazi mutabani wa Yosamu, muzzukulu wa Uzziya, bwe yali nga ye kabaka mu Yuda, Lezini kabaka w'e Busuli, ne Peka mutabani wa Lemaliya, nga ye kabaka mu Isiraeri, ne balumba Yerusaalemi okukirwanyisa, naye ne kibalema okuwangula.
2
Bwe baabulira ennyumba ya Dawudi nti Obusuuli bwekobaanye ne Efulayimu, omutima gwa kabaka n'ogw'abantu be ne gunyeenyezebwa, ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa embuyaga.
3
Mukama n'alyoka agamba Isaaya nti, “Fuluma kaakano ogende ne mutabani wo Seyalusayubu, osisinkane Akazi, mu kifo omukutu gw'ekidiba eky'engulu we gukoma, ku luguudo olugenda ku nnimiro y'omwozi w'engoye.”
4
Omugambe nti, “Weekuume, kkakkana, totya, era toggwaamu maanyi. Obusungu n'obukambwe obwa Lezini n'Obusuuli, n'obwa mutabani wa Lemaliya, buli ng'omukka ogw'emimuli ebiri egiggweeredde, ogunyooka.
5
Kubanga Obusuuli ne Efulayimu ne mutabani wa Lemaliya bateesezza bubi ku ggwe, nga bagamba nti,
6
Ka twambuke tulumbe Yuda, tukiyuzeeyuze tukyegabanye, tufuule mutabani wa Tabeeri okuba kabaka waakyo.
7
Naye bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ekyo tekijja kubaawo, tekijja kutuukirira.
8
Kubanga Lezini afuga Busuli yekka n'ekibuga kyayo ekikulu Ddamasiko, Naye mu bbanga lya myaka enkaaga mu etaano (65), Efulayimu alibetentebwatentebwa nga takyayinza kuba ggwanga.
9
Ekibuga ekikulu ekya Efulayimu ye Samaliya, ne kabaka wa Isiraeri ye Peka mutabani wa Lemaliya. Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywezebwa.”
10
Awo Mukama n'atumira Akazi obubaka obulala ng'amugamba nti,
11
“Saba Mukama Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba oba mu bbanga waggulu.”
12
Naye Akazi n'addamu nti, “Sijja kusaba kabonero, sijja kukema Mukama.”
13
Isaaya n'ayogera nti, Muwulire kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi; kigambo kitono gye muli mmwe okukooya abantu era n'okwagala ne mwagala okukooya ne Katonda wange?
14
Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi, era alituumwa erinnya lye Imanueri.
15
W'alituukira okwawula ekirungi n'ekibi aliba alya muzigo n'omubisi gw'enjuki.
16
Era ekyo bwe kiriba tekinatuukirira, ensi ezo z'okyawamu bakabaka baazo ziriba zaabuliddwa.
17
Mukama alikuleetako ne ku bantu bo, ne ku nnyumba ya kitaawo, ennaku ezitabangawo bukyanga Efulayimu eva ku Yuda. Ajja kubaleetera kabaka w'e Bwasuli.
18
Olunaku olwo nga lutuuse, Mukama alikoowoola Abamisiri okujja ng'ensowera, nga bava mu bifo eby'ewala, eby'oku mugga gwe Misiri, n'Obwasuli okujja ng'enjuki nga bava mu nsi yaabwe.
19
Balijja bonna ne beeyiwa mu biwonvu ebyazika, ne mu mpuku ez'omu njazi, ne mu bisaka byonna eby'amaggwa, ne mu malundiro gonna.
20
Ku lunaku olwo Mukama alimwesa akamwano akapangise ak'emitala w'emigga, ye Kabaka w'e Bwasuli, alibamwako enviiri ku mutwe, n'obwoya bw'okumagulu, alibasalirako ddala n'ebirevu.
21
Olunaku olwo bwerulituuka, omuntu ne bw'aliba asigazizzaawo ente eyonsa ento n'endiga bbiri,
22
amata amangi ge zirigabiza galisundwamu omuzigo: kubanga buli muntu aliba asigadde mu nsi eyo, anaalyanga omuzigo n'omubisi gw'enjuki.
23
Era ku lunaku olwo, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi (1,000), buli gumu nga gwa sekeri lukumi (1,000), kiriba kisigaddemu myeramannyo n'amaggwa.
24
Abantu banaayiggiranga omwo n'emitego n'obusale, kubanga ensi yonna eriba ejjudde myeramannyo n'amaggwa.
25
Obusozi bwonna okwalimwanga, buliba buzise ng'omuntu tasobola kutuukayo olw'okutya emyeramannyo n'amaggwa, naye waliba wa kusindikayo nte, n'okulinnyirirwa endiga.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66