bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Isaiah 40
Isaiah 40
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 41 →
1
“Musaasire, musaasire abantu bange,” bw'ayogera Katonda wammwe.
2
Mwogere eby'okusaasira Yerusaalemi, mumukoowoole nti entalo ze ziweddewo, n'obutali butuukirivu bwe busonyiyiddwa; Era Mukama amusasudde emirundi ebiri olw'ebibi bye byonna.
3
Eddoboozi liwulirwa waggulu Mu lukoola nti, “Mulongoose ekkubo lya Mukama, mutereeze olugendo lwa Katonda waffe mu ddungu.
4
Buli kiwonvu kirigulumizibwa, na buli lusozi n'akasozi birikkakkanyizibwa; n'obukyamu buligololwa, n'ebifo ebitali bisende biritereezebwa.
5
n'ekitiibwa kya Mukama kiribikkulibwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
6
Eddoboozi lyayogera nti Yogerera waggulu. Ne wabaawo eyayogera nti, “N'ayogerera ki waggulu?” Omubiri gwonna muddo, n'obulungi bwagwo bwonna buliŋŋaanga ekimuli eky'omu nnimiro.
7
Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera; kubanga omukka gwa Mukama gugufuuwako; mazima abantu muddo.
8
Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kinaanyweranga ennaku zonna.
9
Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, weerinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n'amaanyi; liyimuse, totya; gamba ebibuga bya Yuda nti Laba, “ Katonda wammwe!”
10
Laba, Mukama Katonda alijja ng'ow'amaanyi, n'omukono gwe gulimufugira, laba empeera ye eri naye, n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.
11
Aliriisa ekisibo kye ng'omusumba, alikuŋŋaanya abaana b'endiga mu mukono gwe, n'abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.
12
Ani eyali ageze amazzi mu kibatu kye, n'apima eggulu n'oluta, n'agatta enfuufu ey'oku nsi mu kigera, n'apima ensozi mu minzaani n'obusozi mu kipima?
13
Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo gwa Mukama, oba eyamuweerera ebigambo n'amuyigiriza?
14
Ani gwe yali ateesezza naye ebigambo, era ani eyali amuyigirizza ekkubo ery'amazima, n'amunnyonnyola okumanya, n'amulaga ekkubo ery'okutegeera?
15
Laba, amawanga gali ng'ettondo eriri mu nsuwa, era babalibwa ng'efuufu eri ku minzaani, laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo.
16
Ne Lebanooni tamala kuba nku, so n'ensolo zaako tezimala kuba ekiweebwayo ekyokebwa.
17
Amawanga gonna galinga si kintu mu maaso ge; gabalibwa gy'ali nga si kintu ddala era nga kirerya.
18
Kale ani gwe mulifaananya Katonda? oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19
Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n'omuweesi wa zaabu akibikkako zaabu, n'akifumbira emikuufu egya ffeeza.
20
Ayinze obwavu n'okuyinza n'atayinza kirabo ekyenkana awo yeeroboza omuti ogutalivunda; yeenoonyeza omukozi omugezigezi okusimba ekifaananyi ekyole, ekitalijjulukuka.
21
Temunnamanya? Temunnawulira? temubuulirwanga okuva ku lubereberye? temutegeeranga okuva ku kutondebwa kw'ensi?
22
Ye wuuyo atuula ku nsi enneekulungirivu, n'abagituulamu bali ng'amayanzi; atimba eggulu ng'eggigi, era alibamba ng'eweema ey'okutuulamu:
23
afuula abalangira obutaba kintu; afuula abalamuzi b'ensi okuba ebirerya.
24
Weewaawo, tebasimbibwanga; weewaawo, tebasigibwanga; weewaawo, ekikolo kyabwe tekisimbanga mirandira mu ttaka; era abafuuwako ne bawotoka, n'embuyaga ez'akazimu ne zibatwalira ddala ng'ebisusunku.
25
Kale ani gwe mulinfaananya nze okumwenkana? Bw'ayogera Omutukuvu.
26
Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe; ani eyatonda ebyo byonna? afulumya eggye lyabyo ng'omuwendo gwabyo bwe guli; byonna abituuma amannya; olw'obukulu bw'obuyinza bwe, era kubanga wa maanyi mu kuyinza, tewali na kimu ekibulako.
27
Ekikwogeza ki, ggwe Yakobo, n'ogamba, ggwe Isiraeri, nti Ekkubo lyange likwekeddwa Mukama, n'omusango gwange guyise ku Katonda wange?
28
Tonnamanya? Tonnawulira? Katonda ataliggwaawo, Mukama, Omutonzi w'enkomerero z'ensi, tazirika so takoowa; amagezi ge teganoonyezeka.
29
Awa amaanyi abazirika; n'oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30
Abavubuka nabo balizirika balikoowa, n'abalenzi baligwira ddala;
31
naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n'ebiwaawaatiro ng'empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 41 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66