bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Isaiah 29
Isaiah 29
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 30 →
1
Owange, Alyeri, Alyeri, ekibuga Dawudi kye yasiisirako! mugatte omwaka ku mwaka; embaga zituukire mu ntuuko zaazo:
2
ne ndyoka nnakuwaza Alyeri, era walibaawo okukaaba n'okuwuubaala, era aliba gye ndi nga Alyeri.
3
Era ndikusiisirako enjuyi zonna, era ndikuzingiza n'ekigo, era ndikuzimbako enkomera okwetooloola wonna.
4
Era olikkakkanyizibwa, era olyogera ng'oyima mu ttaka, n'ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng'oli mu nfuufu; n'eddoboozi lyo liriba ng'eryoyo aliko omuzimu, nga liva mu ttaka, n'ebigambo byo biryogerwa kyama nga biva mu nfuufu.
5
Naye ekibiina eky'abalabe bo kiriba ng'effufugge, n'ekibiina eky'ab'entiisa kiriba ng'enfuufu efuumuuka; weewaawo, kiriba kya kaseera mangu ago.
6
Alijjirwa Mukama ow'eggye n'okubwatuka, n'ekikankano ky'ensi, n'eddoboozi eddene, n'akazimu ne kibuyaga, n'olulimi olw'omuliro ogwokya.
7
N'ekibiina eky'amawanga gonna agalwana ne Alyeri, gonna agalwana naye n'ekigo kye, n'abamuteganya, kiriba ng'ekirooto, okwolesebwa okw'ekiro.
8
Awo kiriba ng'omuyala bw'aloota, ng'alya naye n'azuukuka, ng'akyalina enjala, oba ng'ow'ennyonta bw'aloota, ng'anywa amazzi, naye n'azuukuka, ng'amunafu ng'alina ennyonta, bwe kityo bwe kiriba ekibiina eky'amawanga gonna agalwana n'olusozi Sayuuni.
9
Mudde awo mwewuunye era mwesiruwaze, muzibe amaaso gammwe, Mutamiire, naye si na mwenge; mutagatte, naye si na kitamiiza.
10
Kubanga Mukama afuse ku mmwe omwoyo ogw'otulo otungi, era azibye amaaso gammwe, mmwe bannabbi; n'emitwe gyammwe, mmwe abalaguzi, agibisseeko.
11
N'okwolesebwa kwonna kufuuse gye muli ng'ebigambo eby'omu kitabo ekissibwako akabonero, abantu kye bawa omuntu eyayigirizibwa nga boogera nti, “Soma kino, nkwegayiridde,” n'ayogera nti, “Siyinza, kubanga kissibbwako akabonero.”
12
Singa bamuwa ekitabo oyo ataayigirizibwa nga boogera nti, “ Soma kino, nkwegayiridde” Addamu nti, “Simanyi kusoma.”
13
Mukama n'ayogera nti, Kubanga abantu bano bansemberera n'akamwa kaabwe, ne banzisamu ekitiibwa n'emimwa gyabwe, naye emitima gwabwe gindi wala, n'okuntya kwabwe kiragiro ky'abantu kye bayigirizibwa;
14
kale, laba, ŋŋenda okukola omulimu ogw'ekitalo mu bantu bano, omulimu ogw'ekitalo era eky'amagero; n'amagezi g'abagezigezi baabwe galizikirira, n'okutegeera kwa bakabaka baabwe kulikwekebwa.
15
Zibasanze abo abakka ennyo wansi okukweka Mukama okuteesa kwabwe, n'emirimu gyabwe giri mu kizikiza, ne boogera nti, “ Ani atulaba? Era ani atumanyi?”
16
Muvuunikira ddala ebintu. Omubumbi balimwenkanya ebbumba; ekintu ekikolebwa n'okwogera ne kyogera ku oyo eyakikola nti, “Teyankola;” oba ekintu ekibumbibwa ne kyogera ku oyo eyakibumba nti, “Talina magezi?”
17
Tekyasigaddeyo kiseera kitono nnyo Lebanooni alifuusibwa ennimiro engimu, n'ennimiro engimu baligiyita kibira?
18
Era ku lunaku luli omuggavu w'amatu aliwulira ebigambo by'omu kitabo, n'amaaso g'omuzibe galiraba okuva mu butalaba ne mu kizikiza.
19
Era abawombeefu balyeyongera okusanyukira Mukama, n'abaavu mu bantu balisanyukira Omutukuvu owa Isiraeri.
20
Kubanga ow'entiisa bamudibizza, n'omunyoomi akoma, n'abo bonna abagala okukola obutali butuukirivu bazikiridde;
21
Abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya, ne batega awa obujulizi mu musango, ne basingisa omusango omutuukirivu.
22
Mukama eyanunula Ibulayimu kyava ayogera ku nnyumba ya Yakobo nti, “Yakobo taliddayo kuswazibwa, so n'obwenyi bwe tebulisiiwuuka.
23
Naye bw'aliraba abaana be, omulimu gw'emikono gyange, wakati mu ye, balitukuza erinnya lyange; weewaawo, balitukuza Omutukuvu owa Yakobo, era balyewuunya Katonda wa Isiraeri.
24
Era n'abo abakyama mu mwoyo, balifuuka abategeevu, n'abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.”
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66