bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Isaiah 19
Isaiah 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 20 →
1
Omugugu gwa Misiri. Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo n'ajja mu Misiri; n'ebifaananyi eby'e Misiri birikankanira mu maaso ge, n'emitima gy'Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.
2
Era ndirwanya Abamisiri n'Abamisiri, era balirwana buli muntu ne muganda we, na buli muntu ne muliraanwa we; ekibuga n'ekibuga, obwakabaka n'obwakabaka.
3
N'omwoyo gw'Abamisiri gulibaggwaamu, nditta entegeka zaabwe zonna; era baliragulwa eri ebifaananyi, n'eri abasamize, n'eri abo abaliko emizimu, n'eri abalogo.
4
Era ndigabula Abamisiri mu mukono gw'omufuzi omukambwe; era kabaka ow'entiisa alibafuga, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
5
N'amazzi ga Kiyira galikendeera, n'omugga guliweebuuka ne gukala.
6
N'obukutu bwagwo buliwunya ekivundu, obugga bwa Kiyira e Misiri bulikeewa ne bukala, ebitoogo n'essaalu biriwotoka.
7
Ebimera ebiri ku Kiyira, ku lubalama lwa Kiyira, ne byonna ebyasigibwa ku Kiyira, birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
8
Era n'abavubi balikungubaga ne bakaaba, n'abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira, balinakuwala, n'abo abatega obutimba mu mazzi baliggwaamu amaanyi.
9
Era nate abo abakola omulimu ogw'obugoogwa obusunsule, n'abo abaluka engoye enjeru, balikeŋŋentererwa.
10
Abo, empagi zaabwe balisaanyizibwawo, abo bonna abakolera empeera balinakuwala mu myoyo.
11
Abakulu ab'e Zowani basiruwalidde ddala; n'abagezigezi ba Falaawo bateesa bya busiru. mugamba mutya Falaawo nti, “ Ndi mwana wa bagezi, omwana wa bassekabaka ab'edda?”
12
Kale nno abasajja bo ab'amagezi bali ludda wa? era bakubuulire kaakano; era bategeere Mukama ow'eggye ky'ateesezza ku Misiri.
13
Abakulu ab'e Zowani basiruwadde, abakulu ab'e Noofu balimbiddwa; Abo ejjinja ery'oku nsonda ery'ebika byayo, abo be bakyamizza Misiri.
14
Mukama atadde omwoyo ogw'obubambaavu mu abo, era bakyamizza Misiri mu buli mulimu gwayo, ng'omutamiivu atagatta ng'asesema.
15
So tewaliba mulimu gwonna gwa Misiri oguyinzika okukolebwa omutwe oba mukira, olusansa oba kitoogo.
16
Ku lunaku luli Misiri erifaanana ng'abakazi, era erikankana eritya olw'okukunkumula kw'omukono gwa Mukama ow'eggye, ogugoloddwa ku yo.
17
N'ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anaagibuulirwangako anaatyanga, olw'okuteesa kwa Mukama ow'eggye, kw'ateesa ku yo.
18
Ku lunaku luli waliba ebibuga bitaano (5) mu nsi y'e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, ne birirayira Mukama ow'eggye. Ekimu kiriyitibwa Kibuga kya kuzikirira.
19
Ku lunaku luli waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y'e Misiri, n'empagi ya Mukama eriba ku nsalo yaayo.
20
Era eriba kabonero era omujulirwa eri Mukama ow'eggye mu nsi y'e Misiri: kubanga balikaabira Mukama olw'abajoozi, naye alibaweereza omulokozi, era omukuumi, naye alibalokola.
21
Era Mukama alimanyibwa Misiri, n'Abamisiri balimanya Mukama ku lunaku luli; weewaawo, balisinza ne ssaddaaka n'ekitone, era balyeyama obweyamo eri Mukama, era balibutuukiriza.
22
Era Mukama alikuba Misiri, ng'akuba era ng'awonya; nabo balidda eri Mukama, naye alyegayirirwa bo, era alibawonya.
23
Ku lunaku luli waliba oluguudo oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n'Omwasuli alijja mu Misiri, n'Omumisiri mu Bwasuli; n'Abamisiri balisinziza wamu n'Abaasuli.
24
Ku lunaku luli Isiraeri eriba ya kusatu wamu ne Misiri n'Obwasuli, okuba ab'omukisa wakati mu nsi:
25
kubanga Mukama ow'eggye abawadde omukisa, ng'ayogera nti Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n'Obwasuli omulimu gw'emikono gyange, ne Isiraeri obusika bwange.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66