bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Isaiah 30
Isaiah 30
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 31 →
1
Zibasanze abaana abajeemu, bw'ayogera Mukama, abakola enteekateeka, naye nga si zange; Ne batta omukago naye nga si mu mwoyo gwange, balyoke bongere ekibi ku kibi;
2
abatambula okuserengeta okugenda e Misiri, nga tebanneebuuzizzaako, okunoonya obukuumi bwa Falaawo, n'obuddukiro mu kisiikirize ky'e Misiri!
3
Obukuumi bwa Falaawo bulifuuka ensonyi zammwe, n'obuddukiro mu kisiikirize ky'e Misiri kuliba kuswala kwammwe.
4
Newakubadde abakulu be bali Zowani, nga n'ababaka be batuuse e Kanesi.
5
Bonna baliswala olw'abantu abatayinza kubagasa, abatayamba newakubadde okugasa, okuggyako okubaleetera ensonyi era ekivume.
6
Omugugu ogw'ensolo ez'omu bukiikaddyo. Bayita mu nsi ey'okulaba ennaku n'okubalagalwa, omuva empologoma enkazi n'ensajja, embalasaasa n'omusota ogw'omuliro ogubuuka, nga batikka obugagga bwabwe ku ndogoyi ento, n'ebintu byabwe ku mabango g'eŋŋamira, nga bagenda eri abantu abatagenda kubagasa.
7
Kubanga obuyambi bwa Misiri bwa bwereere era tebugasa, kyenvudde mmuyita Lakabu atuula obutuuzi.
8
Kale genda okiwandiikire ku kipande mu maaso gaabwe, okiteeke ne mu kitabo, kibeere obujulirwa obw'emirembe n'emirembe.
9
Kubanga be bantu abajeemu, abaana ab'obulimba, abaana abatakkiriza kuwulira mateeka ga Mukama;
10
abagamba abalabi nti, “Temulaba,” n'abalaguzi nti, “Temutulaguliranga bya mazima,” mutubuulire ebitusanyusa, mulagule eby'obulimba,
11
muve mu luguudo, mukyame okuva mu kkubo, Tetwagala kuwulira ku Mutukuvu wa Isiraeri.
12
Kyava ayogera Omutukuvu owa Isiraeri nti, “Kubanga munyoomye ekigambo kino ne mwesiga okujooga n'obubambaavu ne mwesigama okwo;
13
obutali butuukirivu buno kyebuliva bubeera gye muli ng'ekituli ekiwagule ekyagala okugwa, ekizimba enkundi mu kisenge ekiwanvu, okumenyeka kwakyo kujja mangu ddala.
14
Era alikimenya ng'ekintu eky'omubumbi bwe kimenyeka, ng'akimenyamenya awatali kusaasira; n'okulabika ne watalabika luggyo mu bitundu byakyo olw'okusena omuliro mu kyoto, oba olw'okusena amazzi mu kidiba.”
15
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti, “Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera; mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe,” mmwe temufaayo
16
Naye ne mugamba nti, “Nedda, kubanga tuliddukira ku mbalaasi;” kyemuliva mudduka, era nti, “Tulyebagala ku z'embiro;” abalibagoberera kyebaliva babeera ab'embiro.
17
Olukumi balidduka olw'okuboggola kw'omu; olw'okuboggola kw'abataano mulidduka, okutuusa lwe mulisigala ng'omulongooti oguli ku ntikko y'olusozi, era ng'ebendera eri ku kasozi.
18
Era Mukama kyaliva alinda, abakwatirwe ekisa, era kyaliva agulumizibwa abasaasire, kubanga Mukama Katonda alaba ensonga; balina omukisa bonna abamulindirira.
19
Mmwe abantu abali mu Sayuuni abatuula e Yerusaalemi, temuliddamu kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw'olimukaabirira, bwaliwulira eddoboozi ery'oku kaaba kwo, alikwanukula.
20
Era newakubadde nga Mukama ng'akuwa emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okubonyaabonyezebwa, naye abayigiriza bo nga tebakyakwekebwa nate, naye amaaso go galiraba abayigiriza bo.
21
Bwonakyamiranga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira ekigambo ekikuvaako emabega nga kyogera nti, “Lino lye kkubo, litambuliremu.”
22
Era olyonoona bifaananyi byo ebyole ebya bikibwako ffeeza, n'ebyo ebya bikibwako zaabu, olibisuulira ddala ng'ekintu ekitali kirongoofu; olibigamba nti, “Muveewo.”
23
Era alitonnyesa enkuba olw'ensigo zo, z'olisiga mu ttaka; era n'emmere eva mu ttaka, eriba ya mugaso ate nga nnyingi. Mu nnaku ezo ente zo ziririira mu malundiro amagazi.
24
Era ente n'endogoyi ezirima ettaka zirirya eby'okulya ebirimu omunnyo, ebyawewebwa n'olugali n'ekiwujjo.
25
Era ku buli lusozi olugulumivu ne ku buli kasozi akawanvu kuliba emigga egikulukuta emirongooti bwe girigwa.
26
Era omusana gw'omwezi guliba ng'omusana gw'enjuba, n'omusana gw'enjuba gulyeyongera emirundi musanvu, ng'omusana gw'ennaku omusanvu, ku lunaku Mukama lw'alisibirako ekinuubule eky'abantu be n'awonya ekiwundu eky'okufumitibwa kwabwe.
27
Laba, erinnya lya Mukama liva wala, nga lyaka n'obusungu bwe, era nga linyooka omukka omuziyivu; emimwa gye gijjudde okunyiiga, n'olulimi lwe luli ng'omuliro ogwokya;
28
n'omukka gwe guli ng'omugga ogwanjaala, ogutuuka ne mu bulago, okukuŋŋunta amawanga n'olugali olw'okuzikiriza, n'olukoba oluwabya luliba mu mba z'amawanga.
29
Muliba n'oluyimba ng'olwo oluyimbibwa ekiro nga bakwata embaga entukuvu; omutima gwo guliba n'essanyu, ng'omuntu bw'agenda ng'afuuwa endere okujja ku lusozi lwa Mukama, Olwazi lwa Isiraeri.
30
Era Mukama aliyamba abantu okuwuliriza eddoboozi lye ery'ekitiibwa, era aliraga okukka kw'omukono gwe, n'okunyiiga kw'obusungu bwe, n'olulimi lw'omuliro ogwokya n'okubwatuka ne kibuyaga n'omuzira.
31
Olw'eddoboozi lya Mukama Omwasuli alimenyekamenyeka, bwalibakuba n'omuggo gwe.
32
Buli Mukama lw'anamukubanga n'omuggo gwe, wanaabangawo ng'ebivuga by'ebitaasa n'ennanga, nga mukama alwana nabo mu ntalo.
33
Kubanga Tofesi kyategekebwa okuva edda; weewaawo, kyateekerwateekerwa kabaka; akifudde kiwanvu era kigazi, kijjudde omuliro n'enku; omukka gwa Mukama, ng'omugga gwa salufa gukyasa.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66