bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Isaiah 13
Isaiah 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 14 →
1
Omugugu gwa Babbulooni, Isaaya mutabani wa Amozi gwe yalaba
2
Muwanike ebendera ku lusozi olw'erere, mubayimusize eddoboozi, mubawenye bayingire mu miryango egy'abakungu.
3
Ndagidde abawonge bange, weewaawo, mpise abasajja bange ab'amaanyi babonereze abeenyumiriza n'amalala.
4
Oluyoogaano lw'ekibiina ku nsozi, ng'olw'eggwanga eddene! oluyoogaano lw'obwakabaka, obw'amawanga nga gakuŋŋaanye! Mukama ow'eggye ateekateeka eggye olw'olutalo.
5
Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'eggulu, Mukama mu busungu aleese eby'okulwanyisa, okuzikiriza ensi yonna.
6
Mukube ebiwoobe, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi; lulijja ng'okuzikirira okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna.
7
Emikono gyonna kyegiriva giggwamu amaanyi, na buli mutima gw'omuntu gulisaanuuka:
8
era balikeŋŋentererwa; okusonsomolwa n'okubalagalwa kulibakwata; balirumwa ng'omukazi alumwa okuzaala: balitunulaganako nga bawuniikiridde; amaaso gaabwe nga gatangaalirira.
9
Laba, olunaku lwa Mukama lujja, olubi ennyo, olw'ekiruyi n'obusungu; okuzisa ensi, n'okuzikiriza abalina ebibi abaayo okubamalamu.
10
Kubanga emmunyeenye ez'omu ggulu n'ebibiina byazo tebiryaka kwaka kwabyo: enjuba erizikizibwa ng'evaayo, n'omwezi nagwo tegulyaka.
11
Nange ndibonereza ensi olw'obubi bwayo, n'ababi olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndimalawo ekyejo eky'abalina amalala, era ndikkakkanya okwenyumiriza kw'abo abatiisa.
12
Ndifuula abantu okuba abebbula okusinga ezaabu ennungi, omuntu okusinga ezaabu ennungi eya Ofiri.
13
Kyendiva nkankanya eggulu, n'ensi erinyeenyezebwa okuva mu kifo kyayo, mu busungu bwa Mukama ow'eggye, ne ku lunaku olw'ekiruyi kye.
14
Awo olulituuka ng'empeewo egobebwa oba ng'endiga ezitaliiko musumba, buli muntu aliddukira eri abantu be, era buli muntu aliddukira mu nsi ye waabwe.
15
Buli anaalabikanga anaafumitibwanga; na buli anaawambibwanga anaagwanga n'ekitala.
16
N'abaana baabwe abawere balimenyerwamenyerwa mu maaso gaabwe; ennyumba zaabwe zirinyagibwa, n'abakazi baabwe balikwatibwa lwa maanyi.
17
Laba, ndibaleetako Abameedi, abatalissaayo mwoyo eri effeeza, n'ezaabu nga tebasikiriza.
18
Obusaale bwabwe bulitta abavubuka; so tebalisaasira bawere, amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato.
19
Ne Babbulooni, ekitiibwa eky'obwakabaka, obulungi obw'amalala ag'Abakaludaaya, kiriba nga Sodoma ne Ggomola Katonda bye yasuula.
20
Tekisulibwenga mu ennaku zonna, so tekiibeerwengamu emirembe n'emirembe: so n'Omuwalabu taasimbengayo weema; so n'abasumba tebaagalamizengayo magana gaabwe
21
Naye ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaagalamirangayo; n'ennyumba zaabwe zirijjula ebintu ebisinda; ne bamaaya banaabeerangayo, n'ebikulekule binaaziniranga eyo.
22
N'emisege ginaakaabiranga mu bigo byabwe, n'ebibe mu mbiri zaabwe; n'ekiseera kyakyo kiri kumpi okutuuka, so n'ennaku zaakyo teziryongerwako.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66