bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Isaiah 14
Isaiah 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 15 →
1
Mukama alisaasira Yakobo, era, aliddamu okulonda Isiraeri, n'abateeka mu nsi yaabwe bo. Bannamawanga balibeegattako babeerere ddala ba mu nnyumba ya Yakobo.
2
N'amawanga mangi galibayamba okudda mu nsi yaabwe, n'ennyumba ya Isiraeri baliba nabo mu nsi ya Mukama okuba abaddu n'abazaana, era baliwamba abo abaabawambanga; era balifuga abo abaabajooganga.
3
Awo olulituuka ku lunaku Mukama lw'alikuweerako okuwummula mu nnaku zo ne mu kutegana kwo ne mu kuweereza okuzibu kwe wawalirizibwa okuweereza,
4
awo oligera olugero luno ku kabaka w'e Babbulooni n'oyogera nti, “Omujoozi ng'aweddewo! ekibuga ekya zaabu nga kiweddewo!
5
Mukama amenye omuggo ogw'ababi, omuggo ogw'obwakabaka ogw'abo abafuga;
6
ogwakubanga amawanga n'obusungu olutata, ogwafuganga amawanga n'ekiruyi, ne gubayiggannyanga nga tewali muntu yenna aguziyiza.
7
Ensi yonna ewummudde, era eteredde; babaguka okuyimba.
8
Weewaawo, enfugo zikusanyukira, n'emivule egy'oku Lebanooni, nga gyogera nti, ‘Kasookedde ogalamizibwa, tewabangayo ajja kututema.’
9
Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng'ojja: gagolokosa abafu ku lulwo, abakulu bonna ab'ensi; gayimusizza bakabaka bonna ab'amawanga okuva ku ntebe zaabwe.
10
Abo bonna baliddamu ne bakugamba nti Era naawe ofuuse munafu nga ffe! Ofaanana nga ffe!
11
Ekitiibwa kyo kissibwa emagombe, n'eddoboozi ly'ennanga zo; envunyu zaaliiriddwa wansi wo, n'ensiriŋŋanyi zikubisseeko.
12
Ng'ogudde okuva mu ggulu, ggwe emmunyeenye ey'enkya, omwana w'enkya! ng'otemeddwa n'ogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga!
13
Wayogera mu mutima gwo nti, ‘Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeenye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw'ekibiina, ku njuyi ez'enkomerero ez'obukiikakkono;
14
ndirinnya okusinga ebire we bikoma; ndifaanana oyo ali waggulu ennyo.’
15
Naye olissibwa emagombe, ku ntobo y'obunnya.
16
Abo abanaakulabanga banaawunikiriranga, banaakulowoozanga, nga boogera nti, Ye wuuno eyakankanyanga ensi, eyanyeenyanga obwakabaka,
17
Eyazisanga ensi yonna, n'asuula ebibuga byamu; ataatanga basibe be okudda ewaabwe?
18
Bakabaka bonna ab'amawanga, bagalamidde mu kitiibwa, buli muntu mu nnyumba ye ye.
19
Naye ggwe osuulibwa okukuggya mu malaalo go ng'ettabi erikyayibwa, ng'oyambadde abattibwa, abafumitibwa n'ekitala, abakka mu mayinja ag'obunnya; ng'omulambo ogulinnyiriddwa.
20
Toligattibwa nabo mu kuziikibwa, kubanga wazikiriza ensi yo, n'otta abantu bo; ezzadde ly'abo abakola obubi teriryogerwako ennaku zonna.
21
Mutegekere abaana be okuttibwa olw'obutali butuukirivu bwa bakitaabwe; baleme okugolokoka, ne balya ensi, ne bajjuza ensi yonna ebibuga.
22
“Nange ndibagolokokerako,” bw'ayogera Mukama ow'eggye, “ Ne mmalawo mu Babbulooni erinnya lye, n'abalifikkawo, n'omwana n'omuzzukulu, bw'ayogera Mukama.”
23
Era ndikifuula obutaka bwa namunnungu, n'ebidiba eby'amazzi: era ndikyera n'olweyo olw'okuzikiriza, bw'ayogera Mukama ow'eggye.
24
Mukama ow'eggye alayidde, ng'ayogera nti, “Mazima nga bwe nnalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo; era nga bwe nnateesa, bwe kirinywera bwe kityo;
25
ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, era ndimulinnyira n'ebigere ku nsozi zange, kale ekikoligo kye kiribavaako, n'omugugu gwe guliva ku kibegabega kyabwe.
26
Okwo kwe kuteesa okwateesebwa ku nsi yonna, era ogwo gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
27
Kubanga Mukama ow'eggye ye yateesa, era ani alikijjulula? n'omukono gwe gugoloddwa, era ani aliguzzaayo?”
28
Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo omugugu guno.
29
Tosanyuka, ggwe Bufirisuuti, yonna, kubanga omuggo gumenyese ogwakukuba, kubanga mu kikolo ky'omusota muliva essalambwa, n'ezzadde lyalyo liriba musota gwa muliro ogubuuka.
30
N'ababereberye ab'abaavu balirya, n'abatalina bintu baligalamira mirembe; era nditta ekikolo kyo n'enjala, n'ababo abalifikkawo balittibwa.
31
Kuba ebiwoobe, ggwe wankaaki; kaaba, ggwe ekibuga; osaanuuke, olw'entiisa ggwe Bufirisuuti, yonna! kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka, so tewali eyeewala mu ntuuko ze ezaalagirwa.
32
Kale balyanukulwa batya ababaka ab'eggwanga? Mukama yateekawo emisingi gya Sayuuni, ne mu ye ababonyaabonyezebwa ku bantu be mwe baliddukira.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66