bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Isaiah 36
Isaiah 36
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 37 →
1
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14) ogw'obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n'abiwamba.
2
Awo kabaka w'e Bwasuli n'asindika Labusake okuva e Lakisi okugenda e Yerusaalemi eri kabaka Keezeekiya ng'alina eggye eddene. N'ayimirira ku mabbali g'omukutu gw'amazzi omunene eky'engulu ku luguudo olugenda ku nnimiro y'omwozi.
3
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali omukulu w'ennyumba, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bafuluma okumusisinkana.
4
Labusake n'abagamba nti Mugambe kaakano Keezeekiya nti, “Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli, nti Kiki kye weesiga?
5
Olowooza ebigambo obugambo birina amaanyi n'amagezi okuwangula olutalo? Ani nno gwe weesiga olyoke onjemere?
6
Laba, weesigamye ku Misiri, omuggo ogw'olumuli olubetentefu, omuntu bwa gwesigamako gumuyingira mu ngalo ze ne guzifumita: bw'atyo bw'abeera Falaawo kabaka w'e Misiri eri abo bonna abamwesiga.”
7
Naye bw'onoŋŋamba nti, “Twesiga Mukama Katonda waffe, si ye wuuyo Keezeekiya gwe yaggyako ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino?
8
Kale nno kaakano, nkwegayiridde, muwe emisingo mukama wange kabaka w'e Bwasuli nange nnaakuwa embalaasi enkumi bbiri (2,000), bw'obanga ddala olina abanaazeebagala.
9
Oyinza otya okuwangula omuduumizi asembayo obunafu mu ggye lyaffe, ne bwe weesiga Misiri olw'amagaali n'olw'abeebagala embalaasi?
10
Era kaakano nnyambuse okutabaala ensi eno okugizikiriza awatali Mukama? Mukama yaŋŋamba nti Yambuka otabaale ensi eno ogizikirize.”
11
Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti “Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulumanyi, so toyogera naffe mu lulimi Oluyudaaya nga abantu abali ku bbugwe bawulira.”
12
Naye Labusake n'ayogera nti, “ Olowooza Mukama wange antumye eri mukama wo n'eri ggwe okwogera ebigambo bino? Tantumye eri abantu abatuula ku bbugwe, abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n'okunywa omusulo gwabwe?”
13
Awo Labusake n'ayimirira n'ayogerera waggulu n'eddoboozi eddene mu lulimi Oluyudaaya n'ayogera nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli.
14
Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Keezeekiya tabalimba, kubanga taliyinza kubawonya;
15
Keezeekiya tabasigula ng'abagamba nti, ‘Mukama talirema kutuwonya; ekibuga kino tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.’
16
Temuwuliriza Keezeekiya, kubanga bw'atyo bw'ayogera kabaka w'e Bwasuli nti, Mutabagane nange, mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lwalirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli muntu alinywa ku mazzi ag'omu kidiba kye ye,
17
okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku z'emizabbibu.
18
Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng'ayogera nti, Mukama alituwonya. Waliwo katonda yenna ow'amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli?
19
Bali ludda wa bakatonda ab'e Kamasi n'e Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab'e Sefavayimu? Baawonya Samaliya mu mukono gwange?
20
Baani ku bakatonda bonna ab'ensi ezo abaawonya ensi zaabwe mu mukono gwange, olwo Mukama alyoke awonye Yerusaalemi mu mukono gwange?”
21
Naye bo ne basirika ne batamwanukula kigambo: kubanga ekiragiro kya kabaka kyali bwe kiti nti, “ Temumwanukulanga.”
22
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 37 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66