bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 1
1 Corinthians 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
1
Nze Pawulo eyayitibwa okuba omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, nze ne Sotene owooluganda,
2
tuwandiikira ab'ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo eky'omu Korinto. Mwayitibwa okuba abatukuvu, ne mutukuzibwa mu Kristo Yesu, awamu ne bonna abakoowoola mu buli kifo erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama waabwe era owaffe.
3
Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo, babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe.
4
Katonda wange eyabakwatirwa mmwe ekisa ng'ayita mu Kristo Yesu, mmwebaza bulijjo olw'ekyo kye yabakolera.
5
Mwagaggawalira mu Kristo, ne mufuna buli kintu, omuli bye mwogera byonna ne bye mumanyi byonna,
6
kubanga ebyo bye twabategeeza ku Kristo, byanywerera ddala mu mmwe.
7
N'olwekyo mulina buli kirabo kyonna, nga mulindirira okulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
8
Era alibanyweza okutuusa ku nkomerero, muleme kuba na kye munenyezebwamu ku lunaku Mukama waffe Yesu Kristo lw'aliddirako.
9
Katonda eyabayita okwegatta n'Omwana we, Mukama waffe Yesu Kristo, mwesigwa.
10
Abooluganda, mbeegayirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mwenna mukkiriziganyenga mu bye mwogera, mulemenga kwawukanamu, naye mubenga ba mwoyo gumu n'emmeeme emu.
11
Ab'omu nnyumba ya Kuloowe bantegeeza ebifa ku mmwe baganda bange, nga mu mmwe mulimu ennyombo.
12
Kye ŋŋamba kye kino nti buli omu mu mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, oba nti ndi wa Apollo, oba nti ndi wa Keefa, oba nti ndi wa Kristo.
13
Kwe kugamba Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yali akomereddwa ku musaalaba ku lwammwe? Oba mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo?
14
Neebaza Katonda, kubanga nze sibatizanga wadde omu ku mmwe, okuggyako Krispo ne Gaayo.
15
N'olwekyo tewali ayinza kugamba nti yabatizibwa mu linnya lyange.
16
(Era nabatiza n'ab'omu nnyumba ya Siteefano. Okuggyako abo, simanyi oba nga nabatizaayo omulala.)
17
Kristo teyantuma kubatiza, wabula yantuma okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, awatali kwesigama ku magezi ag'abantu obuntu, si kulwa ng'omusaalaba gwa Kristo guggwaamu amaanyi.
18
Ebigambo ebifa ku musaalaba birabika nga bya busirusiru eri abo abali mu kkubo erigenda mu kuzikirira, naye eri ffe abalokolebwa, biba maanyi ga Katonda,
19
kubanga kyawandiikibwa nti: “Ndizikiriza amagezi g'abagezi, ne nzigyawo okutegeera kw'abategeevu.”
20
Omugezi ali ludda wa? Omunnyonnyozi w'amateeka ali ludda wa? Omuwakanyi ow'omulembe guno ali ludda wa? Amagezi g'ensi Katonda tagafudde busirusiru?
21
Katonda mu magezi ge, alaze nti abantu tebasobola kumumanya lwa magezi agaabwe, kyavudde asiima okuyita mu busirusiru bw'ebigambo bye tutegeeza abantu, alyoke alokole abo abamukkiriza.
22
Abayudaaya baagala kulaba byewuunyo. Abayonaani banoonya magezi.
23
Naye ffe tutegeeza abantu Kristo eyakomererwa ku musaalaba. Kristo oyo nkonge eri Abayudaaya, ate busirusiru eri ab'amawanga amalala.
24
Naye Kristo maanyi ga Katonda, era magezi ga Katonda eri abo Abayudaaya n'Abayonaani, Katonda b'ayise,
25
kubanga obusirusiru bwa Katonda, businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda, businga abantu amaanyi.
26
Kale abooluganda, mujjukire nga bwe mwali, Katonda bwe yabayita. Batono mu mmwe ensi be yandiyise ab'amagezi, batono abaali ab'obuyinza, era batono abaali abeekitiibwa.
27
Kyokka Katonda yalonda ebyo ensi by'eyita ebisirusiru, alyoke akwase ab'amagezi ensonyi. Era yalonda ebyo ensi by'eyita ebinafu, alyoke akwase eby'amaanyi ensonyi.
28
Katonda yalonda ebyo ensi by'egaya era by'enyooma, era by'eyita ebitaliiwo, alyoke azikirize ebyo ensi by'eyita ebikulu,
29
waleme kubaawo yeenyumiriza mu maaso ga Katonda.
30
Kyokka mmwe Katonda yabagatta ne Kristo, gwe yafuula amagezi gaffe. Mu Kristo ono, Katonda mwe yatufuulira abatuukirivu, mwe yatutukuliza era mwe yatununulira,
31
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Eyeenyumiriza, yeenyumiririzenga mu Mukama.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16