bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 4
1 Corinthians 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
1
Abantu basaana batulabenga nti tuli baweereza ba Kristo, abaakwasibwa ebyama bya Katonda,
2
kubanga omuwanika kimugwanira okuba omwesigwa.
3
Naye nze sifaayo, mmwe oba omuntu omulala yenna okunsalira omusango. Nange nzennyini sigwesalira,
4
kubanga seemanyiiko musango. Naye ekyo tekitegeeza nti sirina musango, wabula agunsalira ye Mukama.
5
N'olwekyo temusaliranga muntu musango ng'ekiseera tekinnatuuka, era nga Mukama tannajja. Bw'alijja, alimulisa buli kintu ekikwekeddwa mu kizikiza; era aliraga ebirowoozo ebiri mu mitima gy'abantu. Olwo n'alyoka awa buli omu ettendo erimusaanira.
6
Abooluganda, ebyo byonna mbyogedde ku Apollo ne ku nze nzennyini, ng'ekyokulabirako, biryoke bibayambe, muyige ekyawandiikibwa ekigamba nti: “Tosukkanga kipimo.” Era mu mmwe temusaana kubaamu agulumiza muntu n'omu, ate n'anyooma omulala.
7
Ani akufudde omukulu wa banno? Kiki ky'olina ky'otaaweebwa buweebwa? Kale oba nga waweebwa, lwaki weenyumiriza ng'ataaweebwa buweebwa?
8
Mumaze okufuna byonna bye mwetaaga. Mugaggawadde. Mufuuse bakabaka, newaakubadde nga ffe si bwe tuli. Ddala nandyagadde mube bakabaka, naffe tulyoke tubeere bakabaka wamu nammwe.
9
Kubanga ndowooza nti ffe abatume, Katonda yatuwa ekifo ekisemberayo ddala, nga tuli ng'abasaliddwa ogw'okuttibwa, kubanga twafuuka ekyo ensi n'abantu bonna kye beerolera.
10
Ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi. Mmwe muweebwa ekitiibwa, naye ffe tunyoomebwa.
11
Era n'okutuusa kati tulumwa enjala n'ennyonta, tetulina kye twambala, tukubibwa, era tubungeeta bubungeesi;
12
era tutegana nga tukola n'emikono gyaffe. Batukolimira, ffe ne tubasabira mikisa. Bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza.
13
Bwe tuvumibwa, ffe tuddamu na ggonjebwa. Era okutuusa kaakano, tuli ng'ebisasiro by'ensi era obusa bwa byonna.
14
Ebyo sibiwandiika lwa kubaswaza, wabula lwa kubabuulirira ng'abaana bange abaagalwa.
15
Kubanga newaakubadde nga mu Kristo mulina abayigiriza nkumi na nkumi, naye temulina bakitammwe bangi. Kubanga olw'okubaleetera Amawulire Amalungi, nafuuka kitammwe mu Kristo Yesu.
16
Kale mbegayiridde mulabirenga ku nze.
17
Kyenvudde mbatumira Timoteewo. Ye mwana wange omwagalwa era omwesigwa. Alibajjukiza ebyo bye ngoberera mu bulamu bwange mu Kristo, era bye njigiriza wonna wonna mu buli kibiina ky'abakkiriza Kristo.
18
Abamu mu mmwe beekulumbaza nga balowooza nti nze sigenda kujja gye muli.
19
Kyokka Mukama bw'alyagala, ndijja mangu gye muli mmanyire ddala ebyo abeekulumbaza bye baasooka okukola, sso si ebyo bye boogera obwogezi.
20
Kubanga Obwakabaka bwa Katonda tebuli mu bigambo bugambo, wabula mu maanyi.
21
Mwagalako ki? Mwagala njije na muggo oba njije nga njijudde okwagala era n'obukkakkamu?
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16