bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 15
1 Corinthians 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
1
Abooluganda, mbajjukiza Amawulire Amalungi ge nabategeeza ne mugakkiriza era mwe munyweredde,
2
era ag'okubalokola bwe munaagakuumira ddala nga bwe nagabategeeza. Bwe kitaba bwe kityo, mpozzi nga mwakkiririza bwereere.
3
Nabatuusaako ekigambo ekikulu, nange kye naweebwa, ekigamba nti Kristo yafa olw'ebibi byaffe, ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba,
4
era nti yaziikibwa, n'azuukira ku lunaku olwokusatu ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba;
5
era nti yalabikira Keefa, ate n'alabikira abatume ekkumi n'ababiri;
6
n'oluvannyuma n'alabikira baganda baffe abasukka mu bikumi ebitaano, bonna nga bali wamu. Abasinga obungi ku bo bakyali balamu, newaakubadde nga abamu baafa.
7
Awo n'alabikira Yakobo, n'oluvannyuma n'alabikira abatume bonna.
8
Bwe yamala okulabikira abo bonna, n'alyoka alabikira nange, newaakubadde nga ndi ng'omwana omusowole,
9
kubanga nze nsembayo mu batume. Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo.
10
Naye olw'ekisa kya Katonda, kyenva mbeera nga bwe ndi kaakano, era ekisa kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Nakola nnyo okusinga abatume abalala bonna, naye si nze nakola, wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola.
11
Oba yali nze oba bo, bwe tutyo bwe tutegeeza abantu, era bwe mutyo bwe mwakkiriza.
12
Kale oba nga abantu bategeezebwa nti Kristo yazuukira, lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira?
13
Kale oba nga tewali kuzuukira, ne Kristo teyazuukira.
14
Era oba nga Kristo teyazuukira, bye twabategeeza tebiriiko kye bigasa, era n'okukkiriza kwammwe tekugasa.
15
Ate era tuba ng'abaayogera eby'obulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo, gw'ataazuukiza, bwe kiba nga ddala abafu tebazuukira.
16
Kale oba nga abafu tebazuukira, ne Kristo teyazuukira.
17
Oba nga Kristo teyazuukira, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa, era mukyali mu bibi byammwe.
18
Era n'abo abaafa nga bakkiriza Kristo, baazikirira.
19
Oba nga Kristo tumusuubiramu bya bulamu buno bwokka, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna.
20
Naye kya mazima Kristo yazuukira. Ekyo kye kikakasa nti n'abo abaafa balizuukira.
21
Kuba ng'okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n'okuzuukira kwaleetebwa muntu.
22
Kuba ng'abantu bonna bwe bafa olw'Adamu, era bwe batyo bonna balifuuka balamu olwa Kristo,
23
kyokka buli omu mu luwalo lwe. Kristo ye yasooka, era bw'alijja, ababe ne baddako,
24
olwo enkomerero n'eryoka etuuka. Kristo ng'amaze okuggyawo obufuzi bwonna, n'obuyinza bwonna era n'amaanyi gonna, n'akwasa Katonda Kitaawe Obwakabaka,
25
kubanga Kristo ateekwa okufuga okutuusa lw'alirinnyirira abalabe be bonna.
26
Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa, ye Kufa,
27
kubanga kyawandiikibwa nti: “Katonda yamuwa okufuga ebintu byonna.” Naye bwe kyogera ku bintu byonna, tekitwaliramu Katonda, eyawa Kristo okufuga ebintu byonna.
28
Ebintu byonna bwe birimala okussibwa mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Mwana, n'alyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda n'alyoka afugira ddala byonna.
29
Oba ng'abafu tebazuukira, abo ababatizibwa ku lw'abafu bagenderera ki? Kale lwaki babatizibwa ku lw'abafu?
30
Era ffe lwaki tweteeka mu kabi buli kaseera?
31
Abooluganda, olw'okwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nsanyukiramu mu Kristo Yesu Mukama waffe, nnyinza okukakasa nti nfa buli lunaku.
32
Kale oba nga nalwana n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, kingasa ki? Oba ng'abafu tebazuukira, “Kale tulye tunywe, kubanga enkya tujja kufa.”
33
Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”
34
Mweddemu, mulekere awo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi.
35
Naye omuntu ayinza okubuuza nti: “Abafu bazuukira batya?” Era nti: “Mubiri gwa ngeri ki gwe bajja nagwo?”
36
Musirusiru ggwe! Ensigo gy'osiga temeruka nga tennafa.
37
Era eyo gy'osiga eba mpeke buweke: oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala, sso tekiba kimera nga bwe kiriba nga kimaze okukula.
38
Naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo,
39
kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo ogw'abantu, waliwo ogw'ensolo, waliwo ogw'ennyonyi, era waliwo n'ogw'ebyennyanja.
40
Waliwo emibiri egy'omu ggulu, n'emibiri egy'omu nsi. Naye ekitiibwa ky'egy'omu ggulu kirala, era n'eky'egy'omu nsi kirala.
41
Waliwo ekitiibwa eky'enjuba, waliwo ekitiibwa eky'omwezi, era waliwo ekitiibwa eky'emmunyeenye. Naye n'emmunyeenye tezenkanankana kwaka.
42
Era bwe kiri ne mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, naye guzuukizibwa nga si gwa kuvunda.
43
Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye guzuukizibwa nga gwa kitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi.
44
Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga guli ng'omwoyo. Oba nga waliwo omubiri obubiri, era waliwo n'omubiri oguli ng'omwoyo.
45
Era bwe kityo kyawandiikibwa nti “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng'alina obulamu.” Kyokka Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu.
46
Naye eky'omwoyo si kye kyasooka, wabula eky'omubiri obubiri, n'oluvannyuma eky'omwoyo ne kijja.
47
Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Omuntu owookubiri yava mu ggulu.
48
Ng'eyakolebwa mu nfuufu bw'ali, n'abo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. Era ng'eyava mu ggulu bw'ali, n'abo ab'omu ggulu bwe bali.
49
Nga bwe twawumbibwa ne tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tuliwumbibwa ne tufaanana oyo eyava mu ggulu.
50
Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti omubiri n'omusaayi tebiyinza kufuna Bwakabaka bwa Katonda, n'okuvunda tekusikira butavunda.
51
Ka mbabuulire ekyama: si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey'enkomerero bw'erivuga, ffenna tulifuukira
52
mu kaseera katono, ng'ak'okutemya n'okuzibula, kubanga eŋŋombe erivuga, n'abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa, era ffenna tulifuuka.
53
Kubanga omubiri guno oguvunda, gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri ogufa, gwa kufuuka ogutafa.
54
Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, n'ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira, ekigamba nti:
55
“Ggwe Kufa, obuwanguzi bwo buluwa? Ggwe Kufa, obuyinza bwo obulumya buluwa?”
56
Obuyinza bw'Okufa obulumya buva mu kibi, n'amaanyi g'ekibi gava mu mateeka.
57
Kyokka Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.
58
N'olwekyo baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu, era abatasagaasagana, mweyongerenga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe nga mukolera Mukama waffe, si kwa kufa bwereere.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16