bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 16
1 Corinthians 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
1
Kale ebyo ebikwata ku kukuŋŋaanya eby'okuyamba abantu ba Katonda, nammwe mukole nga bwe nalagira ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Galatiya.
2
Ku buli lunaku olusooka mu wiiki, buli omu mu mmwe abeeko ky'atereka, okusinziira ku nfuna ye, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize.
3
Bwe ndituuka, abo be musiima be ndituma, ne bagenda n'ebbaluwa, ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemu.
4
Bwe kirirabika nti kisaanye nange ŋŋende, baligenda nange.
5
Ndijja gye muli nga mmaze okuyita e Makedooniya, kubanga e Makedooniya gye ndiyita.
6
Era osanga ndibeera nammwe, mpozzi n'okumalirako ddala n'ebiro eby'obutiti, mulyoke munnyambe okwongera olugendo lwange buli gye ndigenda.
7
Kaakano ssaagala kubalaba nga mpita buyisi, nsuubira okumala nammwe ebbanga eriwerako, Mukama bw'alisiima.
8
Kyokka ndisigala mu Efeso okutuusa ku Pentekoote,
9
kubanga nfunye omukisa munene okukolayo omulimu ogw'omugaso, newaakubadde ng'eriyo abalabe bangi.
10
Timoteewo bw'alijja, mulabe nti tabaako ky'atya ng'ali mu mmwe, kubanga akola omulimu gwa Mukama nga nze.
11
N'olwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe, olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi, kubanga nze n'abooluganda tumulindiridde.
12
Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apollo, namwegayirira nnyo ajje gye muli ng'ali n'abooluganda abalala, kyokka ye n'atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng'afunye ebbanga.
13
Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ba maanyi.
14
Byonna bye mukola, mubikozesenga kwagala.
15
Abooluganda, mumanyi nti ab'ennyumba ya Siteefano be baasooka okukyuka mu Asiya, era beewaayo okuweereza abantu ba Katonda. Mbeegayirira
16
muwulirenga abantu ng'abo, era na buli omu afuba okukolera awamu nabo.
17
Siteefano ne Forutunaato ne Akayiko bwe bajja, nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe.
18
Era bansanyusa era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng'abo mubassengamu ekitiibwa.
19
Ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Asiya bibalamusizza. Akwila ne Priska, awamu n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekiri mu maka gaabwe, babalamusizza nnyo mu Mukama.
20
Abooluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana.
21
Nze Pawulo mbaweerezza okulamusa kuno, kwe mpandiise n'omukono gwange gwennyini.
22
Oba nga waliwo atayagala Mukama, avumirirwe. Mukama ajja.
23
Mukama waffe Yesu abakwatirwenga ekisa.
24
Mwenna mbaagala mu Kristo Yesu. Amiina.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16