bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 7
1 Corinthians 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
1
Kaakano bino bye bikwata ku ebyo bye mwampandiikira. Kirungi omusajja alemenga kuwasa.
2
Kyokka olw'okwewala obwenzi, kisaana buli musajja afune omukazi owuwe, era na buli mukazi afune bba.
3
Omusajja atuukirizenga ekimubanjibwa mu bufumbo, era n'omukazi akolenga bw'atyo.
4
Omukazi si ye alina obuyinza ku mubiri gwe, wabula bba ye agulinako obuyinza. Bw'atyo n'omusajja si ye alina obuyinza ku mubiri gwe, wabula mukazi we ye agulinako obuyinza.
5
Abafumbo, buli omu alemenga kugaana munne, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubenga n'ebbanga ery'okwegayiririramu Katonda. Naye oluvannyuma muddiŋŋanenga, sikulwa nga Sitaani abakema olw'obuteefuga bwammwe.
6
Ekyo nkyogera nga mbalaga nti muyinza okukikola, sso si tteeka.
7
Nandyagadde abantu bonna babe nga nze bwe ndi. Kyokka buli omu alina ekirabo kye ekyenjawulo, Katonda kye yamuwa: omu kya ngeri eno, n'omulala kya ngeri ndala.
8
Abo abatali bafumbo ne bannamwandu, mbategeeza nti singa basigalira awo nga nze bwe ndi, kyandibadde kirungi.
9
Naye oba nga tebasobola kwefuga, kale bawase oba bafumbirwe, kubanga okufumbiriganwa kusinga okubonyaabonyezebwa okwegomba.
10
Bo abafumbo mbalagira bwe nti, si nze mbalagira, wabula Mukama. Omukazi tanobanga ku bba.
11
Singa anoba, taafumbirwenga nate. Ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo, addiŋŋane ne bba.
12
Abalala bo mbagamba, nze sso si Mukama, nti owooluganda bw'abanga n'omukazi atali mukkiriza, ng'ayagala okubeera naye, tamugobanga.
13
Era singa omukazi abeera n'omusajja atali mukkiriza, ng'ayagala okubeera naye, tamunobangako.
14
Kubanga omusajja atali mukkiriza, atukuzibwa olw'okwegatta ne mukazi we, era n'omukazi atali mukkiriza atukuzibwa olw'okwegatta ne bba omukkiriza. Singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu, naye kaakano batukuvu.
15
Kyokka oyo atali mukkiriza bw'ayagala okwawukana, baawukane. Muganda waffe oba mwannyinaffe tewali kimusiba mu ekyo, kubanga Katonda yatuyitira mirembe.
16
Ggwe omukazi omukkiriza omanyi otya ng'olirokola balo? Oba ggwe omusajja omukkiriza, omanyi otya ng'olirokola mukazi wo?
17
Buli omu abe mu bulamu Mukama bwe yamuwa, era Katonda bwe yamuyitira. Ekyo kye kiragiro kye mpa mu bibiina byonna eby'abakkiriza Kristo.
18
Eyakkiriza nga mukomole aleme okwegomba okuba ataakomolebwa. N'oyo eyakkiriza nga si mukomole aleme kwegomba kukomolebwa.
19
Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kye kikulu, wabula ekikulu kwe kukwatanga ebiragiro bya Katonda.
20
Buli omu asigalenga mu mbeera gye yayitirwamu.
21
Wayitibwa ng'oli muddu? Kale tofaayo. Naye oba nga ofunye omukisa okufuuka ow'eddembe, togufiirwa.
22
Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula muntu we wa ddembe. N'oyo Mukama gwe yayita nga wa ddembe, muddu mu Kristo.
23
Mmwe yabagula omuwendo munene. N'olwekyo temufuukanga baddu ba bantu.
24
Abooluganda, buli omu abeerenga mu mbeera gye yalimu, Katonda bwe yamuyita.
25
Ebikwata ku batali bafumbo, sirina kiragiro kiva eri Mukama, naye mbawa ekirowoozo kyange ng'omuntu eyasaasirwa Mukama, ne nfuuka omwesigwa.
26
Okusinziira ku bizibu ebiriwo kaakano, ndowooza nti omuntu kirungi okusigala nga bw'ali.
27
Bw'oba n'omukazi leka kugezaako kumweggyako. Bw'oba toli mufumbo, leka kugezaako kunoonya mukazi wa kuwasa.
28
Kyokka bw'owasa oba tokoze kibi. Era n'omukazi atali mufumbo bw'afumbirwa, aba takoze kibi. Wabula abo abafumbirwa banaabeeranga n'emitawaana egy'obufumbo. Naye mmwe nandyagadde okugibawonya.
29
Abooluganda, mbagamba nti ekiseera kisigadde kitono, era okuva kaakano abo abalina abakazi babe ng'abatalina,
30
n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba, n'abo abasanyuka, babe ng'abatasanyuka. Abo abagula babe ng'abatalina bintu.
31
Era n'abo abakozesa eby'oku nsi kuno, babe ng'abatabikozesa, kubanga ensi eno nga bw'eri, eggwaawo.
32
Njagala mulemenga kweraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku mulimu gwa Mukama, era Mukama gw'ayagala okusanyusa.
33
Naye omufumbo, yeeraliikirira bya nsi, nga bw'anaasanyusa mukazi we.
34
Aba yeesazeemu, alowooza wabiri. Era omukazi atali mufumbo oba omuwala, yeemalira ku bya Mukama, ayagala abe mutukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo, yeeraliikirira bya nsi, nga bw'anaasanyusanga bba.
35
Ebyo mbyogera lwa bulungi bwammwe, sibatikka mugugu, wabula mbalaga bulazi ekisinga obulungi, mulyoke mweweere ddala Mukama, nga temutaataaganyizibwa.
36
Naye omusajja bw'alowoozanga nti tayisizza bulungi omuwala gw'abeera naye bw'atamuwasa, ate nga tayinza kwefuga, akole nga bw'ayagala; bafumbiriganwe, ekyo si kibi.
37
Naye oyo omunywevu mu mutima gwe, era nga talina kimuwaliriza, naye nga yeefuga, n'amalirira obutawasa muwala oyo, wabula okumukuuma nga mwannyina, aba akoze bulungi.
38
Kale oyo awasa omukazi gw'ayogereza aba akoze bulungi, kyokka oyo amukuuma nga mwannyina ye asinga.
39
Omukazi omufumbo taba na ddembe okufumbirwa omusajja omulala nga bba akyali mulamu. Kyokka bba bw'afa, olwo aba wa ddembe okufumbirwa omusajja omulala gw'aba ayagadde, wabula ng'agoberera Mukama ky'ayagala.
40
Kyokka bw'asigala nga bw'ali, lw'asinga okuba n'essanyu. Ekyo kye kirowoozo kyange, era ndowooza nti nange nnina Mwoyo wa Katonda.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16