bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 10
1 Corinthians 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
1
Abooluganda, njagala mumanye ebyatuuka ku bajjajjaffe. Bonna baakulemberwanga ekire, era bonna baayita mu nnyanja emmyufu.
2
Era bonna ng'abagoberezi ba Musa, baabatizibwa mu kire ne mu nnyanja,
3
era bonna emmere baalyanga ku emu ey'omwoyo.
4
Era bonna baanywanga ekyokunywa kimu eky'omwoyo, kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga, era olwazi olwo yali Kristo.
5
Naye era bangi ku bo, Katonda teyabasiima. Kyebaava bafiira mu ddungu.
6
Ebyo byali bya kutulabula, tulemenga okwegomba ebibi, nga bo bwe baakola.
7
Temusinzanga ebyo ebitali Katonda, ng'abamu ku bo bwe baakola, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abantu baatuula okulya n'okunywa, ne basituka okuzannya.”
8
Tulemenga okwenda, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bafa abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu, ku lunaku lumu.
9
Tulemenga kukema Mukama, ng'abamu ku bo bwe baamukema, ne bazikirizibwa emisota.
10
Era tulemenga kwemulugunya, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, malayika n'abatta.
11
Ebyo byonna byabatuukako, biryoke bibe ebyokulabirako, era byawandiikibwa olw'okuyigiriza ffe abaliwo ng'enkomerero eneetera okutuuka.
12
Kale oyo alowooza nti ayimiridde, yeegenderezenga aleme okugwa.
13
Ebikemo ebibatuuseeko, by'ebyo ebituuka ku bantu bonna. Katonda mwesigwa, era taabalekenga kutuukibwako bikemo bibayitiridde. Era mu kukemebwa, anaabawanga amaanyi ag'okugumira ebikemo, n'amagezi ag'okubiwangula.
14
N'olwekyo, mikwano gyange, mwewalenga okusinza ebyo ebitali Katonda.
15
Njogera nammwe nga mmanyi nti mutegeera. Kale mulabe kye ŋŋamba.
16
Bwe twebaza Katonda olw'ekikopo ekiweebwa omukisa, tuba tetussa kimu n'omusaayi gwa Kristo?
17
Omugaati guli gumu, era ffe abangi tuli omubiri gumu, kubanga tugabana ku mugaati gumu.
18
Kale mulabe ab'eddiini y'Ekiyudaaya kye bakola: abo abalya ebitambiro eby'oku alutaari, tebeetaba wamu ne Katonda aweerezebwa ebitambiro ebyo?
19
Ddala ŋŋamba nti ekyo ekitali Katonda, oba ekyokulya ekiweebwayo eri ebitali Katonda, biriko kye bigasa?
20
Nedda temuli mugaso. Kye ŋŋamba kye kino nti ebyo abantu b'ensi bye batambira, babitambirira balubaale, sso si Katonda. Naye saagala mmwe mwetabe na balubaale.
21
Temuyinza kunywa ku kikopo kya Mukama, ne ku kikopo kya balubaale. Temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama, ne ku mmeeza ya balubaale.
22
Kale twagala kunyiiza Mukama? Ffe tumusinga amaanyi?
23
Byonna bikkirizibwa, weewaawo, naye si byonna ebigasa. Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebizimba.
24
Walemenga kubaawo afa ku bibye byokka, wabula afenga ne ku by'abalala.
25
Buli ekitundibwa mu katale, mukiryanga nga temuliiko kye mubuuza olw'obulungi bw'omwoyo gwammwe.
26
Kubanga ensi ne byonna ebigirimu bya Mukama.
27
Atali mukkiriza bw'abayitanga ku kijjulo, ne mukkiriza okugenda, buli kye babaleeteranga okulya, mukiryanga nga temuliiko kye mubuuza olw'obulungi bw'omwoyo gwammwe.
28
Naye omuntu bw'abagambanga nti: “Kino kyaweereddwayo eri ebitali Katonda,” temukiryanga olw'oyo abagambye, n'olw'obulungi bw'omwoyo.
29
Ŋŋamba lwa bulungi bwa mwoyo gwe, sso si gugwo. Waliwo ayinza okugamba nti: “Lwaki eddembe lyange likugirwa olw'okweraliikirira kw'omuntu omulala?
30
Bwe ndya nga neebazizza Katonda, lwaki nnenyezebwa olw'ekyo kye ndya nga neebazizza?”
31
Kale byonna bye munaakolanga, oba kulya oba kunywa, mubikolenga nga mugendereramu kitiibwa kya Katonda.
32
Temwesittazanga Bayudaaya, newaakubadde Abayonaani, wadde ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo.
33
Mube nga nze agezaako okusanyusa bonna mu buli kye nkola, nga sifa ku bulungi bwange nzekka, wabula ku bwa bangi, balyoke balokolebwe.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16