bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 9
1 Corinthians 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
1
Siri wa ddembe? Siri mutume? Saalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala by'omulimu gwe nkolera Mukama?
2
Oba nga siri mutume eri abalala, naye eri mmwe ndi mutume, kubanga mmwe kabonero akakakasa nti Mukama yantuma.
3
Bino bye nnyanukula abo abanvunaana.
4
Tetulina buyinza ku byakulya na byakunywa byaffe?
5
Tetulina buyinza okutambulanga n'omukazi owooluganda, ng'abatume abalala, ne Keefa, ne baganda ba Mukama bwe bakola?
6
Oba nze nzekka ne Barunaba, ffe tusaana okwekolera?
7
Muserikale ki eyali yeesasulidde ebimukolako ng'ali ku lutabaalo? Ani asimba ennimiro y'emizabbibu n'atalya ku bibala byamu? Oba ani alunda ente n'atanywa ku mata gaazo?
8
Ebyo mbyogera ku bwange? Etteeka nalyo si bwe ligamba?
9
Kubanga kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa nti: “Ente togisibanga mumwa ng'ewuula eŋŋaano.” Olowooza nti Katonda ente z'alumirwa?
10
Oba kino akyogera ku lwaffe abantu? Ekyo kyawandiikibwa ku lwaffe, kubanga oyo alima era n'oyo akungula, basaanira okukola omulimu gwabwe nga basuubira okufuna ku bibala.
11
Ffe abaabasigamu ebirungi eby'omwoyo, kiba kinene nnyo bwe tukungula ku byammwe ebigasa omubiri?
12
Oba nga abalala balina obuyinza okubifunako, obuyinza obwo si ffe tusinga okuba nabwo? Naye obuyinza obwo tetubukozesezza, wabula tugumiikiriza byonna, tuleme kuziyiza Mawulire Amalungi aga Kristo.
13
Temumanyi nti abo abaweereza mu Ssinzizo balya ku bya mu Ssinzizo, era nga n'abo abaweereza ku alutaari bagabana ku biweebwayo mu kifo ekyo?
14
Era bw'atyo ne Mukama yalagira nti abo abategeeza abantu Amawulire Amalungi basaana okuliisibwa olw'omulimu ogwo.
15
Naye nze ebyo sibisabye, era bwe mpandiika kino, sigamba nti binkolerwe, kubanga waakiri nfe okusinga omuntu lw'anzigyako ekyo ekinneenyumiririzisa.
16
Bwe ntegeeza abantu Amawulire Amalungi, ekyo tekinneenyumiririzisa, kubanga nteekwa buteekwa okukikola, era ziba zinsanze bwe sitegeeza bantu Amawulire Amalungi.
17
Singa ekyo nkikola lwa kweyagalira, nandibadde nsaanira okuweebwa empeera. Naye nga bwe sikikola lwa kweyagalira, nkikola lwa kuba nga Katonda yankwasa omulimu ogwo.
18
Kale empeera yange y'eruwa? Empeera yange kwe kutegeeza abantu Amawulire Amalungi nga sisasulwa era nga sirina na kimu kye nsaba olw'omulimu ogwo.
19
Newaakubadde nga siri muddu wa muntu n'omu, nafuuka muddu wa bonna, ndyoke ndeete bangi eri Kristo.
20
Mu Bayudaaya nafuuka ng'Omuyudaaya, ndyoke ndeete Abayudaaya. Mu abo abafugibwa amateeka g'Ekiyudaaya, nafuuka nga bo ndyoke mbaleete.
21
Mu b'amawanga amalala abatalina mateeka ga Kiyudaaya, nafuuka ng'atagalina, ndyoke ndeete abo abatalina mateeka ago. Kino tekitegeeza nti sikwata mateeka ga Katonda, kubanga nfugibwa amateeka ga Kristo.
22
Mu banafu mu kukkiriza nafuuka ng'omunafu, ndyoke mbaleete. Nafuuka byonna eri bonna, ndyoke mbeeko abamu ku bo be ndokola.
23
Ebyo byonna mbikola olw'Amawulire Amalungi, ndyoke ngabane ku birungi ebiva mu go.
24
Temumanyi nti mu mbiro ez'empaka abadduka baba bangi, naye aweebwa ekirabo abeera omu? Kale muddukenga bwe mutyo, mulyoke muweebwe ekirabo.
25
Buli eyeetaba mu mizannyo egy'empaka yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo, balyoke baweebwe engule eyonooneka, naye ffe tuliweebwa engule eteyonooneka.
26
N'olwekyo sidduka ng'atalina kye ŋŋenderera. Nnwana naye siri ng'oyo akuba ebbanga.
27
Mbonereza omubiri gwange era ngufuga, si kulwa nga mmala okutegeeza abalala Amawulire Amalungi, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16