bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 2
1 Corinthians 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
1
Abooluganda, bwe najja gye muli, okubategeeza ekyama kya Katonda, saakozesa bigambo bizibu okutegeera, oba eby'amagezi ennyo,
2
kubanga bwe nali nammwe nasalawo okwerabira ebirala byonna, okuggyako Yesu Kristo, eyakomererwa ku musaalaba.
3
Bwe nali mu mmwe, nali munafu era nga nkankana nnyo olw'okutya.
4
Era mu kwogera kwange ne mu kuyigiriza kwange, temwalimu bigambo bya magezi ebisendasenda, wabula mwalimu amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu,
5
okukkiriza kwammwe kuleme kunywerera ku magezi ga bantu buntu, wabula ku maanyi ga Katonda.
6
Naye mu abo abakulu mu mwoyo, twogera eby'amagezi, naye eby'amagezi agatali ga bantu ab'oku nsi kuno, wadde ag'abafuzi b'ensi eno, abaggwaawo,
7
wabula twogera eby'amagezi ga Katonda agatamanyiddwa bantu, era agaakisibwa. Katonda yagateekateeka edda n'edda lyonna, gabe ekitiibwa kyaffe.
8
Tewali n'omu ku bafuzi ku nsi kuno ategeera magezi ago, kubanga singa baagategeera, tebandikomeredde ku musaalaba Mukama oweekitiibwa.
9
Naye nga bwe kyawandiikibwa: “Ebyo eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawulirangako, era ebitalowoozebwangako muntu n'omu, by'ebyo Katonda bye yategekera abamwagala.”
10
Kyokka ffe, Katonda ng'ayita mu Mwoyo we, yatumanyisa ekyama ekyo, kubanga Mwoyo anoonyereza buli kintu, n'ekyo ekiri mu Katonda yennyini.
11
Tewali amanya birowoozo bya muntu, wabula omwoyo gwe gwe gubimanya. Bwe kityo ne Mwoyo wa Katonda ye yekka amanya ebya Katonda.
12
Tetwaweebwa mwoyo gwa ku nsi kuno, wabula twaweebwa Mwoyo eyava ewa Katonda, tulyoke tutegeerenga ebyo Katonda by'atuwa.
13
N'olwekyo tetwogera bigambo bya magezi ga bantu buntu, wabula twogera ebyo Mwoyo by'ayigiriza, ne tubinnyonnyola abo abategeera ebya Mwoyo.
14
Naye omuntu atafugibwa Mwoyo wa Katonda, tasobola kukkiriza bya Mwoyo wa Katonda, kubanga abiraba ng'eby'obusirusiru. Era tayinza kubitegeera, kubanga byekenneenyezebwa muntu alina Mwoyo wa Katonda.
15
Oyo afugibwa omwoyo yeekenneenya byonna, naye ye tewali n'omu amwekenneenya,
16
kubanga, “ani amanyi Mukama by'alowooza alyoke amuwabule”? Kyokka ffe tumanyi endowooza ya Kristo.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16