bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 3
1 Corinthians 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
1
Kale abooluganda, ssaasobola kwogera nammwe ng'abafugibwa omwoyo, naye nayogera nammwe ng'abantu abafugibwa omubiri, abakyali abato mu Kristo.
2
Nabanywesa mata, ssaabaliisa mmere, kubanga mwali temunnagisobola. Era ne kaakano temunnagisobola,
3
kubanga mukyafugibwa mubiri. Kale obuggya n'okuyombagana bwe bibeera mu mmwe, olwo nga temufugibwa mubiri, era nga n'empisa zammwe si za bantu buntu?
4
Kale omu mu mmwe bw'agamba nti: “Nze ndi wa Pawulo,” n'omulala nti: “Nze ndi wa Apollo,” olwo temuba ng'abantu obuntu?
5
Kale Apollo ye ani? Ye Pawulo ye ani? Si baweereza buweereza abaabaleetera okukkiriza, nga Mukama bwe yawa buli omu?
6
Nze nasiga, Apollo n'afukirira, kyokka Katonda ye yakuza.
7
Oyo asiga, n'oyo afukirira si be bakulu, wabula Katonda akuza.
8
Oyo asiga, n'oyo afukirira, bonna benkana, era buli omu aliweebwa empeera ye, okusinziira ku mulimu gwe yakola,
9
kubanga ffe tuli bakozi, abakolera awamu ne Katonda. Mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.
10
Nakola omulimu gw'omuzimbi omukugu, nga nsinziira ku kisa Katonda kye yankwatirwa, ne nteekawo omusingi, n'omuzimbi omulala kw'azimbira. Kyokka buli aguzimbirako yeegenderezenga,
11
kubanga Yesu Kristo yateekebwawo, nga gwe musingi gwokka, era tewali ayinza kuteekawo musingi mulala.
12
Kale ku musingi ogwo, omuntu bw'azimbisaako zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo, emiti, essubi, ebisasiro –
13
omulimu gwa buli omu gulirabibwa. Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lwe luligwoleka, kubanga lulikya na muliro. Era omuliro ogwo gwe gulyoleka omulimu gwa buli omu nga bwe gufaanana.
14
Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera.
15
Naye bwe kiryokebwa, alikifiirwa. Wabula ye yennyini alirokolebwa, kyokka ng'ali ng'ayise mu muliro.
16
Temumanyi nga muli ssinzizo lya Katonda, era nga Mwoyo wa Katonda abeera mu mmwe?
17
Kale omuntu bw'azikiriza essinzizo lya Katonda, omuntu oyo alizikirizibwa Katonda, kubanga essinzizo lya Katonda ttukuvu, era essinzizo eryo ye mmwe.
18
Waleme kubaawo yeerimba. Bwe wabaawo mu mmwe eyeerowooza okuba omugezi mu by'ensi, afuukenga musiru, lw'aliba omugezi,
19
kubanga amagezi g'ensi, buba busirusiru mu maaso ga Katonda. Kyawandiikibwa nti: “Katonda akwatira abagezi mu bugezigezi bwabwe.”
20
Era kyawandiikibwa nti: “Mukama amanyi nti ebirowoozo by'abagezi tebiriimu nsa.”
21
Kale mulemenga kwenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe.
22
Oba Pawulo, oba Apollo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo, byonna byammwe.
23
Mmwe muli ba Kristo, ate Kristo wa Katonda.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16