bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 8
1 Corinthians 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
1
Kale ebyo ebikwata ku kulya ebiweereddwayo eri ebitali Katonda, kituufu nti “Ffenna tutegeera.” Naye okutegeera kuleeta okwekulumbaza, wabula okwagala kwe kuzimba.
2
Omuntu bw'alowooza nti alina ky'amanyi, aba tannamanya ngeri gy'asaanira kumanyamu.
3
Naye omuntu bw'ayagala Katonda, omuntu oyo amanyibwa Katonda.
4
Naye bwe twogera ku kulyanga ebiweebwayo eri ebyo ebitali Katonda, tumanyi nti ebyo ebitali Katonda, tebiriimu nsa. Tumanyi nti waliwo Katonda omu yekka.
5
Newaakubadde nga waliwo abayitibwa balubaale mu ggulu oba ku nsi, era newaakubadde nga balubaale abo be “Bakama” abangi,
6
naye tulina Katonda omu, Kitaffe eyatonda ebintu byonna, era nga naffe tubeerawo ku bubwe. Era waliwo Mukama omu yekka Yesu Kristo, byonna mwe byatonderwa, atubeesaawo.
7
Kyokka si bonna abamanyi ekyo. Naye abantu abamu baamanyiira ebitali Katonda, era n'okutuusa kaakano bwe balya emmere eyo, balowooza nti y'ebyo ebitali Katonda. Era olw'okuba ng'omwoyo gwabwe munafu, balowooza nti bakoze kibi okulya emmere eyo.
8
Kyokka emmere si y'etufuula abalungi eri Katonda. Era bwe tutalya tetulina kye tufiirwa, ne bwe tulya, tetulina kye tweyongerako.
9
Naye mwegendereze, eddembe lyammwe lireme okufuuka ekyesittaza abanafu.
10
Kubanga ggwe “Amanyi,” singa omuntu omunafu mu mwoyo akulaba ng'otudde mu ssabo olya, ekyo tekirimugumya okulya ebyo ebiweereddwayo eri ebitali Katonda?
11
Kale muganda wo oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, alizikirira olw'okumanya kwo?
12
N'olwekyo bw'okola ekibi ku baganda bo, n'ofumita omwoyo gwabwe omunafu, oba okikoze ku Kristo.
13
Kale oba nga kye ndya kireetera muganda wange okugwa mu kibi, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nneme okuleetera muganda wange okugwa mu kibi.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16