bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 14
1 Corinthians 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
1
Kale muluubirirenga okwagalana, era mwegombenga ebirabo ebigasa omwoyo, na ddala ekirabo eky'okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda.
2
Kubanga ayogera ennimi, tayogera na bantu, wabula ayogera na Katonda, kubanga by'ayogera, tewali abitegeera. Ebyama by'ayogera Mwoyo ye abimwogeza.
3
Kyokka oyo atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, abategeeza ebibazimba, ebibakubiriza era ebibagumya.
4
Oyo ayogera ennimi, yeegasa yekka. Naye oyo atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, agasa ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo.
5
Nandyagadde mwenna mwogere ennimi. Naye ekisingira ddala, nandyagadde mwenna mutuuse ku bantu obubaka bwa Katonda, kubanga oyo atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, agasa nnyo okusinga oyo ayogera ennimi, okuggyako mpozzi nga waliwo avvuunula, ekibiina ky'abakkiriza Kristo kiryoke kiganyulwe.
6
Kale abooluganda, bwe njija gye muli ne njogera ennimi, mbagasa ki nga sibategeezezza ebyo Katonda by'andaze, oba bye mmanyi, oba bye nnanga, oba bye njigiriza?
7
Era n'ebivuga, ebitalina bulamu, ng'endere oba ennanga, bwe bitavuga maloboozi gategeerekeka, omuntu amanya atya ekifuuyibwa oba ekikubibwa?
8
Era singa eŋŋombe tevaamu ddoboozi litegeerekeka, ani ayinza okweteekerateekera olutalo?
9
Ne ku mmwe bwe kiri. Bwe mwogera mu lulimi olutategeerekeka, omuntu ayinza atya okutegeera ebyogeddwa? Muba mwogeredde bwereere.
10
Kya mazima waliwo ennimi nnyingi mu nsi, era tewali na lumu lutalina makulu.
11
Naye bwe mba nga simanyi bigambo kye bitegeeza, mba ng'omugwira eri oyo ayogera, era naye aba ng'omugwira gye ndi.
12
Bwe mutyo nammwe, nga bwe mwegomba okufuna ebirabo ebigasa omwoyo, mufubenga nnyo, mulyoke muzimbe ekibiina ky'abakkiriza Kristo.
13
N'olwekyo ayogera olulimi lw'atamanyi, asabe Katonda, amuwenga okuluvvuunula,
14
kubanga bwe nsinza Katonda mu lulimi lwe sitegeera, omutima gwange gusinza, naye amagezi gange tegabaako kye gakola.
15
Kale nkole ki? Bwe nsinza Katonda, njagala omutima gwange era n'amagezi gange bisinze. Bwe nnyimba, njagala omutima gwange era n'amagezi gange biyimbe.
16
Kale bwe kitaba bwe kityo, bwe weebaza Katonda mu lulimi olutategeerekeka, omuntu atategeera ky'ogamba asobola atya okuddamu nti “Amiina,” ng'omalirizza okwebaza?
17
Weewaawo oyinza okuba nga weebazizza bulungi nnyo Katonda, naye omulala taganyulwa.
18
Neebaza Katonda, kubanga mwenna nze mbasinga okwogera ennimi.
19
Naye mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, njagala njogere n'amagezi gange ebigambo bitaano ebitegeerekeka, ndyoke njigirize abalala, okusinga lwe njogera ebigambo olukunkumuli, mu lulimi olutategeerekeka.
20
Abooluganda, temulowoozanga ng'abaana abato. Naye mu bye mukola, mube ng'abaana abato abatalina musango, wabula mube bakulu mu kulowooza.
21
Mu Kitabo Ekitukuvu kyawandiikibwa nti: “Ndyogera n'abantu bano, nga njogeza abantu ab'ennimi endala, n'emimwa gy'ab'amawanga amalala, naye era abantu bange tebalimpuliriza. Ekyo Mukama ky'agamba.”
22
N'olwekyo, ennimi tezireetebwa lw'abo abalina okukkiriza, wabula lw'abo abatalina kukkiriza. Naye okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, kuliwo lw'abo abalina okukkiriza, sso si lw'abo abatalina kukkiriza.
23
Kale singa ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo kikuŋŋaana, ne mwogera ennimi, ab'ebweru, oba abo abatalina kukkiriza ne bayingira, tebagamba nti mulaluse?
24
Naye singa bonna batuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, atalina kukkiriza oba ow'ebweru n'ayingira, ebyo ebyogerwa bonna, bijja kumuleetera okulumwa olw'ebibi bye, yeesalire omusango,
25
ebyo by'alowooza mu mutima gwe bibikkulwe, afukamire asinze Katonda, nga bw'agamba nti: “Ddala Katonda ali mu mmwe.”
26
Kale abooluganda, bibe bitya? Bwe mukuŋŋaana, omu aba n'oluyimba, omulala aba n'eky'okuyigiriza, omulala aba n'ekyo Katonda ky'amulaze, omulala okwogera ennimi, n'omulala okuvvuunula. Ebyo byonna bikolebwenga olw'okwezimba.
27
Singa wabaawo aboogera ennimi, abangi bandibadde babiri; bwe basingawo, tebandisusse ku basatu. Era buli omu ayogerenga mu luwalo lwe, nga waliwo n'omulala avvuunula.
28
Naye bwe wataba avvuunula, olwo ayogera ennimi asirikenga busirisi ng'ali mu lukuŋŋaana, wabula ayogerenga yekka ne Katonda.
29
Kyokka abatuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, boogerenga babiri oba basatu, ng'abalala bageraageranya ebyogeddwa.
30
Naye singa omu ku batudde ajjirwa ekigambo kya Katonda, oli abadde ayogera asirikenga,
31
kubanga mwenna, mu mpalo, muyinza okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, bonna balyoke bayige, era bonna bongerwemu amaanyi.
32
Abo abafuna ekirabo eky'okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, basobola okwefuga,
33
kubanga Katonda taleeta kutabukatabuka, wabula aleeta mirembe. Nga bwe kiri mu bibiina byonna eby'abantu ba Katonda abakkiriza Kristo,
34
abakazi basirikenga busirisi nga mukuŋŋaanye, kubanga tebakkirizibwa kwogeranga, wabula okusirikanga, ng'amateeka g'Ekiyudaaya bwe galagira.
35
Bwe banaabangako ne kye baagala okumanya, bakibuuzenga babbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogerera mu lukuŋŋaana lw'abantu.
36
Kale mulowooza nti ekigambo kya Katonda kyava mu mmwe, oba nti kyatuuka ku mmwe mwekka?
37
Bwe wabeerawo omuntu eyeerowooza nti atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, oba nti afugibwa mwoyo, ategeere nti bye mbawandiikira mmwe, kye kiragiro kya Mukama.
38
Bwe wabaawo atafa ku kino, naye aleme kufiibwako.
39
Kale baganda bange, mwegombenga nnyo okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, naye temuziyizanga kwogera nnimi.
40
Naye byonna bikolebwenga bulungi era mu butebenkevu.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16