bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 12
1 Corinthians 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
1
Abooluganda, njagala mutegeere ebifa ku birabo ebigasa omwoyo.
2
Mumanyi nti bwe mwali mukyali bantu ab'ensi, mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebyo ebitali Katonda, era ebitayogera.
3
Kyenva njagala mutegeere nti tewali muntu n'omu, Mwoyo wa Katonda gw'ayogeza, n'agamba nti: “Yesu avumirirwe!” Era tewali n'omu agamba nti: “Yesu ye Mukama,” wabula nga Mwoyo Mutuukirivu ye akimwogezezza.
4
Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba ye omu.
5
Waliwo engeri nnyingi ez'okuweerezaamu, naye Mukama aweerezebwa ye omu.
6
Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi, kyokka Katonda ye omu asobozesa bonna mu buli kye bakola.
7
Mwoyo alabikira mu buli omu olw'okugasa bonna.
8
Omu, Mwoyo amuwa okwogera eby'amagezi, omulala, Mwoyo ye omu n'amuwa okutegeera.
9
Omulala, Mwoyo ye omu amuwa okukkiriza, n'omulala n'amuwa obuyinza obw'okuwonya abalwadde.
10
Omu, Mwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n'omulala n'amuwa okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda; ate omulala n'amuwa okumanya emyoyo emirungi n'emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi, n'omulala n'amuwa okuzivvuunula.
11
Naye Mwoyo akola ebyo byonna ye omu, ye agabira bonna nga bw'ayagala.
12
Kristo afaanaanyirizibwa n'omubiri. Newaakubadde nga gulina ebitundu bingi, naye gusigala nga guli gumu.
13
Bwe tutyo naffe ffenna, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala, abaddu n'ab'eddembe, twabatizibwa Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, era ffenna twafuna Mwoyo omu.
14
Omubiri teguba na kitundu kimu, naye guba n'ebitundu bingi.
15
Singa ekigere kigamba nti: “Siri mukono, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikiggyaako kubeera kitundu kya mubiri.
16
Era singa okutu kugamba nti: “Siri liiso, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikuggyaako kubeera kitundu kya mubiri.
17
Singa omubiri gwonna gwali liiso, okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, okuwunyiriza kwandibadde wa?
18
Naye kaakano Katonda yateeka mu mubiri ebitundu ebyenjawulo, nga bwe yayagala.
19
Singa byonna byali ekitundu kimu, olwo omubiri gwandibadde wa?
20
Naye kaakano ebitundu bingi, naye omubiri guli gumu.
21
Eriiso teriyinza kugamba mukono nti: “Ggwe sikwetaaga,” wadde omutwe okugamba ebigere nti: “Mmwe sibeetaaga.”
22
Naye mu mazima, ebitundu by'omubiri ebirabika ng'ebisinga obunafu, bye bisinga okwetaagibwa.
23
Era ebitundu ebyo eby'omubiri bye tulowooza okuba ebinyoomebwa, bye tusinga okwambaza ekitiibwa, n'ebyo ebitalabika bulungi, bye tusinga okuwa ekitiibwa ekingi,
24
ebitundu byaffe ebisinga obulungi kye biteetaaga. Bw'atyo Katonda bwe yatereeza omubiri, ebitundu ebinyoomebwa n'abiwa ekitiibwa ekisinga obunene,
25
omubiri guleme kwesalaasalamu, wabula ebitundu byagwo bikolaganirenga wamu.
26
Ekitundu ekimu bwe kirumwa, n'ebirala byonna birumirwa wamu nakyo. Era ekitundu ekimu bwe kiweebwa ekitiibwa, ebitundu byonna bisanyukira wamu nakyo.
27
Kale mwenna muli mubiri gwa Kristo, era buli omu mu mmwe kitundu kyagwo.
28
Era mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, Katonda yateekamu abantu: abasooka be batume, abaddako be balanzi, ne kuddako abayigiriza, ne kuddako abakozi b'ebyamagero, abawonya abalwadde, abayambi b'abantu, abafuzi, era n'aboogera ennimi.
29
Bonna batume? Bonna balanzi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero?
30
Bonna balina ebirabo eby'okuwonya abalwadde? Bonna boogera ennimi? Bonna bavvuunula ennimi?
31
Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era ka mbalage ekkubo erisingira ddala obulungi.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16