bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 5
1 Corinthians 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
1
Tutegedde nti mu mmwe mulimu obwenzi, obutasangibwa na mu batalina kukkiriza, kubanga omuntu atwala muka kitaawe n'amufuula mukazi we.
2
Ne mwekulumbaza sso nga mwandinakuwadde bunakuwazi, era eyakola ekyo yandibadde aggyibwa mu mmwe.
3
Nze newaakubadde siri eyo nammwe mu mubiri, naye nga bwe ndi nammwe mu mwoyo, omuntu eyakola ekikolwa ekyo, mmaze okumusalira omusango okumusinga.
4
Mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo, era nga n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu Kristo gali nammwe
5
muweeyo eri Sitaani omuntu eyakola ekyo, omubiri gwe guzikirizibwe, omwoyo gwe gulyoke gulokolebwe ku lunaku Mukama waffe Yesu lw'addirako.
6
Temusaana kwekulumbaza. Temumanyi nti ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?
7
Muggyeewo ekizimbulukusa ekyo eky'edda, mulyoke mubeerere ddala ekitole ekiggya, nga ddala temuliimu kizimbulukusa, kubanga Kristo, endiga ey'Okuyitako kwaffe, atambiddwa.
8
Kale tulye embaga eteri ya mugaati ogulimu ekizimbulukusa eky'edda, eky'ettima n'obubi, naye ey'omugaati ogutaliimu kizimbulukusa: bwe bulongoofu, obwesimbu, n'amazima.
9
Mu bbaluwa gye nabawandiikira, nabagamba obuteetabanga na benzi.
10
Kyokka sigamba abenzi abatalina kukkiriza, ab'omululu oba abanyazi, oba abasinza ebitali Katonda, kubanga okwewala abo, mpozzi mwandibadde nga muviira ddala ku nsi kuno.
11
Naye kaakano mbawandiikira, mulemenga kwetaba na muntu n'omu eyeeyita owooluganda, bw'aba nga mwenzi oba ow'omululu, oba asinza ebitali Katonda, oba omuvumi w'abantu, oba omutamiivu, oba omunyazi. Ow'engeri eyo n'okulya temulyanga naye.
12
Kale nfaayo ki okusalira omusango abantu ab'ebweru? Katonda ye aligubasalira. Naye abo ab'omu nju yammwe, temusaana kubasalira musango? Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Omubi mumuggye mu mmwe.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16