bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 11
1 Corinthians 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
1
Mulabire ku nze, nga nze bwe ndabira ku Kristo.
2
Mbatendereza olw'okunjijukira mu byonna n'olw'okugoberera byonna nga bwe nabayigiriza.
3
Naye njagala mutegeere nti Kristo ye akulira buli muntu, era nti omusajja ye akulira mukazi we, era nti Katonda ye akulira Kristo.
4
Kale omusajja bw'aba nga yeegayirira Katonda, oba ng'ategeeza abantu ekigambo kya Katonda, n'abikka omutwe gwe, aswaza Kristo, Mukama we.
5
Kyokka omukazi bw'aba nga yeegayirira Katonda, oba ng'ategeeza abantu ekigambo kya Katonda, nga tabisse mutwe gwe, aswaza bba; kubanga omukazi oyo aba ng'amwereddwako enviiri.
6
Kale omukazi bw'atabikka ku mutwe gwe, asalengako enviiri ze. Naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalako enviiri ze, oba okumwebwa omutwe, kale ateekwa okubikkanga ku mutwe gwe.
7
Omusajja ye tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye alaga ekifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda. Kyokka omukazi ye alaga ekitiibwa ky'omusajja,
8
kubanga omusajja si ye yatondebwa ng'aggyibwa mu mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa ng'aggyibwa mu musajja.
9
Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olw'omusajja.
10
Kale olwa bamalayika, omukazi asaanye okubangako akabonero ku mutwe gwe, akalaga nti afugibwa.
11
Newaakubadde nga kiri bwe kityo, naye mu Mukama, omukazi tabaawo awatali musajja, n'omusajja tabaawo awatali mukazi,
12
kubanga ng'omukazi bwe yatondebwa ng'aggyibwa mu musajja, n'omusajja azaalibwa mukazi; naye byonna biva wa Katonda.
13
Nammwe mwennyini mulabe: kisaana omukazi okwegayirira Katonda nga tabisse ku mutwe gwe?
14
Embeera y'abantu tebayigiriza nti omusajja okukuza enviiri kimuswaza,
15
naye ng'omukazi okuba n'enviiri empanvu kiba kya kitiibwa? Kubanga enviiri ze zaamuweebwa lwa kumubikka.
16
Naye bwe wabaawo ayagala okuleeta empaka ku bino, ategeere nti ffe, wadde ab'ebibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo tetulinaayo kirala.
17
Mu kino kye mbakubiriza, sibatendereza, kubanga bwe mukuŋŋaana, ebivaamu tebiba birungi, wabula biba bibi.
18
Ekisookera ddala, bantegeeza nti bwe mukuŋŋaana mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, mwawukanayawukanamu, era ekyo ku ludda olumu nzikiriza nti bwe kiri,
19
kubanga era okwesalaasalamu kuteekwa okubaawo, ab'amazima mu mmwe balyoke bamanyibwe.
20
Bwe mukuŋŋaana, ekyo kye mulya tekikyali kya kiro kya Mukama waffe,
21
kubanga bwe muba mulya, buli omu alya mmere ye, n'atalinda banne. Abamu baba bakyali bayala, abalala nga batamidde.
22
Kale temulina maka ga kuliirangamu na kunywerangamu? Oba munyooma ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, ne muswaza abo abatalina kantu? Mbagambe ki? Mbatendereze olw'ekyo? Nedda, sibatendereza.
23
Mukama ye yampa ekyo kye nabayigiriza mmwe nti: Mukama Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yakwata omugaati,
24
ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'agamba nti: “Kino gwe mubiri gwange, oguliwo ku lwammwe. Kino mukikolenga olw'okunjijukira.”
25
Era bw'atyo bwe yakola ne ku kikopo. Bwe baamala okulya, n'agamba nti: “Ekikopo kino ye ndagaano empya ekoleddwa Katonda, n'ekakasibwa n'omusaayi gwange. Buli lwe munaakinywangako, mukinywengako olw'okunjijukira.”
26
Buli lwe munaalyanga ku mugaati guno, era buli lwe munaanywanga ku kikopo kino, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama, okutuusa lw'alijja.
27
N'olwekyo buli alya ku mugaati guno, oba anywa ku kikopo kya Mukama nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri ne ku musaayi gwa Mukama.
28
Kale nno omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati era anywe ku kikopo,
29
kubanga buli alya era anywa nga tasaanidde, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga, kubanga aba tategedde makulu ga mubiri gwa Mukama.
30
Mu mmwe kyemuvudde mubeeramu bangi abalwadde n'abanafu, era bangi bafudde.
31
Naye singa tusooka okwekebera, Katonda teyanditusalidde musango.
32
Naye Mukama bw'atusalira omusango, atukangavvula, tuleme okusingibwa omusango awamu n'ensi.
33
Kale baganda bange, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya, mulindenga bannammwe.
34
Era singa wabaawo alumwa enjala, amalenga okulya ng'akyali eka, okukuŋŋaana kwammwe kuleme okunenyezebwanga. Ebirala, ndibitereeza nga nzize.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16