bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Corinthians 6
1 Corinthians 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
1
Omu mu mmwe bw'abaako ky'avunaana munne, lwaki aguma okutwala ensonga ze mu balamuzi abatalina kukkiriza, n'atazitwala mu bantu ba Katonda?
2
Temumanyi nti abantu ba Katonda be balisalira ensi omusango? Oba nga mmwe mulisalira ensi omusango, kale temusobola kusala musango mu busonga obwo obutono?
3
Temumanyi nti ffe tulisalira bamalayika omusango? Kale tuyinza tutya okulemwa okusala emisango egy'omu bulamu buno?
4
Kale bwe muba n'emisango egy'engeri eyo, lwaki mugitwala eri abo ab'ebweru, abanyoomebwa mu kibiina ky'abakkiriza Kristo?
5
Kino nkyogedde kubaswaza. Ddala mu mmwe temuyinza kuzuulamu muntu mugezi asobola okusala omusango gw'abooluganda?
6
Ddala owooluganda awawaabire muganda we eri abo abatalina kukkiriza?
7
Naye n'okuwozaŋŋanya mwekka na mwekka, kiraga nti muli mu kabi. Lwaki temugumiikiriza nga mukoleddwa akabi? Lwaki temugumira bya kulyazaamanyizibwa?
8
Naye mmwe mwennyini mukola bubi, era mulyazaamaanya. Kino mukikola ne ku baganda bammwe.
9
Temumanyi nti abatali batuukirivu tebalifuna mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: abo abakola eby'obukaba, abasinza ebitali Katonda, abenzi, abalya ebisiyaga,
10
ababbi, ab'omululu, abatamiivu, abawaayiriza, n'abanyazi, tebalifuna mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda.
11
Era abamu ku mmwe mwali ng'abo. Naye olw'erinnya lya Mukama Yesu Kristo n'olwa Mwoyo wa Katonda, mwanaazibwa era mwatukuzibwa, ne muweebwa obutuukirivu.
12
Omu ayinza okugamba nti: “Byonna nzikirizibwa okubikola.” Weewaawo, naye si byonna ebigasa. Nange nnyinza okugamba nti: “Byonna nzikirizibwa okubikola.” Naye nga byo si bye binfuga.
13
N'omulala ayinza okugamba nti: “Ebyokulya byatonderwa lubuto, n'olubuto lwatonderwa byakulya.” Weewaawo, naye byombi Katonda alibiggyawo. Naye omubiri teguliiwo lwa bwenzi, wabula guliwo lwa Mukama, ne Mukama lwa mubiri.
14
Katonda yazuukiza Mukama, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge.
15
Temumanyi nti emibiri gyammwe bitundu bya mubiri gwa Kristo? Kale nnyinza okuddira ebitundu by'omubiri gwa Kristo ne mbifuula ebitundu by'omwenzi? Ekyo siyinza kukikola.
16
Temumanyi nti eyeegatta n'omwenzi, bombi baba omubiri gumu? Kubanga kyawandiikibwa nti: “Bombi baliba omubiri gumu.”
17
Kyokka oyo eyeegatta ne Mukama, bombi baba omu mu mwoyo.
18
Mwewalenga obwenzi. Buli kibi omuntu ky'akola, kiba bweru wa mubiri gwe. Kyokka oyo ayenda, akola ekibi ku mubiri gwe gwennyini.
19
Temumanyi nti emibiri gyammwe lye ssinzizo lya Mwoyo Mutuukirivu abeera mu mmwe, Katonda gwe yabawa? Era temumanyi nti temuliiwo ku lwammwe?
20
Mwagulwa n'omuwendo munene. N'olwekyo emibiri gyammwe mugikozesenga ebyo ebiweesa Katonda ekitiibwa.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16