bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 11
Revelation 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 12 →
1
Ne mpeebwa olumuli olufaanana ng'omuggo, ne wabaawo aŋŋamba nti: “Situka opime Essinzizo lya Katonda, ne alutaari, era obale abasinzizaamu.
2
Naye oluggya oluli ebweru w'Essinzizo lya Katonda luleke, tolupima, kubanga lwaweebwa bantu ab'ensi, abalirinnyirira ekibuga ekitukuvu, okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
3
Ndituma abajulirwa bange babiri, nga bambadde ebikutiya, ne mbawa obuyinza bamale ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga, nga bategeeza abantu ekigambo kya Katonda.”
4
Abajulirwa abo ababiri gy'emiti emizayiti ebiri, n'ebikondo by'ettaala ebibiri, ebiri mu maaso ga Mukama w'ensi.
5
Bwe wabaawo ayagala abo okubakolako akabi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe. Bwe kityo buli ayagala okubakolako akabi, ateekwa okuttibwa.
6
Abo balina obuyinza okusiba eggulu, enkuba n'etetonnya mu kiseera kye bategeerezaamu abantu ekigambo kya Katonda. Era balina obuyinza ku mazzi, okugafuula omusaayi. Balina n'obuyinza okuleeta ku nsi ebibonyoobonyo ebya buli ngeri buli lwe baagadde.
7
Bwe balimala okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda, ekisolo ekiva mu bunnya obutakoma, kirirwana nabo, ne kibawangula, ne kibatta.
8
Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z'ekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba. Erinnya ly'ekibuga ekyo ery'olugero ye Sodoma oba Misiri.
9
Abantu aba buli ngeri, n'ab'ebika byonna, n'ab'ennimi zonna, n'ab'amawanga gonna, balitunuulira emirambo gyabwe, okumala ennaku ssatu n'ekitundu, ne batagikkiriza kuziikibwa.
10
Abantu ab'oku nsi balisanyuka olw'okufa kw'abo bombi. Balijaguza, era baliweerezaganya ebirabo, kubanga abalanzi abo ababiri baabonyaabonya nnyo ab'oku nsi.
11
Ennaku essatu n'ekitundu bwe zaayitawo, omwoyo ogw'obulamu oguva eri Katonda, ne gubayingiramu, ne bava we bagudde ne bayimirira. Abaabalaba ne batya nnyo.
12
Abalanzi abo ababiri ne bawulira eddoboozi ery'omwanguka eriva mu ggulu nga libagamba nti: “Mujje eno!” Ne balinnya mu ggulu nga bagendera mu kire, ng'abalabe baabwe balaba.
13
Mu kaseera ako kennyini, ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi. Ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kizikirira, n'abantu kasanvu ne battibwa okukankana kw'ensi. Abantu abaasigalawo ne bakwatibwa entiisa, ne batendereza ekitiibwa kya Katonda ow'omu ggulu.
14
Ekikangabwa ekyokubiri kiyise, naye laba, ekikangabwa ekyokusatu kinaatera okutuuka!
15
Awo malayika ow'omusanvu n'afuuwa eŋŋombe ye. Ne wabaawo amaloboozi ag'omwanguka, nga gagamba nti: “Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe era bwa Kristo, era anaafuganga emirembe n'emirembe.”
16
Awo abakadde amakumi abiri mu abana abatuula mu maaso ga Katonda, ku ntebe zaabwe ez'obwakabaka, ne bavuunama, ne basinza Katonda,
17
nga bwe bagamba nti: “Mukama Katonda Omuyinzawaabyonna, abaawo era eyabaawo, tukwebaza, kubanga weddizza obuyinza bwo n'otandika okufuga.
18
Abantu ab'ensi baasunguwala nnyo. Naye n'obusungu bwo ne bujja; obudde ne butuuka okusalira abafu omusango, n'okuwa empeera abaweereza bo abalanzi, n'abantu bo bonna abakulu n'abato abakussaamu ekitiibwa. Era obudde ne butuuka okusaanyaawo abo abazikiriza ensi.”
19
Essinzizo lya Katonda ery'omu ggulu ne liggulwawo, n'essanduuko ey'endagaano ye n'erabika mu Ssinzizo lye. Ne wabaawo okumyansa, n'amaloboozi, n'okubwatuka, n'okukankana kw'ensi, n'omuzira mungi.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22