bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 21
Revelation 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 22 →
1
Awo ne ndaba eggulu eriggya n'ensi empya. Eggulu eryasooka n'ensi eyasooka byali biweddewo, n'ennyanja nga tekyaliwo.
2
Ne ndaba Ekibuga Ekitukuvu, Yerusaalemu Ekiggya, nga kikka nga kiva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba.
3
Ne mpulira eddoboozi ery'omwanguka nga lyogerera awali entebe ey'obwakabaka, nga ligamba nti: “Laba, kaakano ekisulo kya Katonda kiri mu bantu; anaabeeranga nabo. Baliba bantu be, Katonda yennyini anaabeeranga nabo, nga ye Katonda waabwe.
4
Era alisangula buli zziga mu maaso gaabwe. Waliba tewakyali kufa nga tewakyali kunakuwala, oba okukaaba, wadde obulumi, kubanga olwo eby'edda biriba biweddewo.”
5
Awo oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka n'agamba nti: “Kati ebintu byonna mbizza buggya.” Era n'agamba nti: “Wandiika ebigambo bino, kubanga bituufu, era byesigibwa.”
6
Ate n'aŋŋamba nti: “Ebintu bino byonna kati bituukiridde! Nze Alufa ne Omega, entandikwa n'enkomerero. Buli alina ennyonta, ndimuwa buwa amazzi ag'omu luzzi olw'obulamu n'anywa.
7
“Buli awangula, alifuna ebyo. Ndiba Katonda we, ye n'aba mwana wange.
8
Kyokka abati, n'abatakkiriza, n'aboonoonefu, n'abatemu, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebyo ebitali Katonda, n'abalimba bonna, omugabo gwabwe guliba mu nnyanja ey'omuliro ogwaka ennyo, kwe kufa okwokubiri.”
9
Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, ebijjudde ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero, n'ajja n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Jjangu nkulage Omugole, muk'Omwana gw'Endiga.”
10
Awo Mwoyo n'anjijako, malayika n'antwala ku lusozi olunene era oluwanvu, n'andaga Yerusaalemu ekibuga ekitukuvu, nga kikka nga kiva mu ggulu ewa Katonda.
11
Okumasamasa kwakyo nga kuli ng'okw'ejjinja ery'omuwendo ennyo eriyitibwa yasipero, eritangalijja.
12
Kyaliko ekisenge ekikyetoolodde era ekiwanvu, nga kiriko emiryango kkumi n'ebiri, egiriko bamalayika kkumi na babiri, era nga giwandiikiddwako amannya g'ebika ekkumi n'ebibiri eby'Abayisirayeli.
13
Ebuvanjuba kyaliko emiryango esatu, mu bukiikakkono emiryango esatu, mu bukiikaddyo emiryango esatu, n'ebugwanjuba emiryango esatu.
14
Ekisenge ekyetoolodde ekibuga kyalina emisingi kkumi n'ebiri, nga giriko amannya g'abatume ekkumi n'ababiri, ab'Omwana gw'Endiga.
15
Malayika eyayogera nange yalina omuggo ogwa zaabu nga gwa kupima ekibuga, n'emiryango gyakyo, n'ekisenge kyakyo ekikyetoolodde.
16
Enjuyi z'ekibuga ekyo ennya zaali zenkana: ng'obuwanvu bwakyo bwenkana n'obugazi bwakyo. Awo malayika n'apima ekibuga ekyo n'omuggo gwe, ne kiweza kilomita ng'enkumi bbiri mu bina, obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo nga bwenkanankana.
17
Era n'apima n'ekisenge kyakyo ekikyetoolodde, ne kiweza mita nga nkaaga obugulumivu. Ekipimo ekikozesebwa abantu, malayika kye yapimisa.
18
Ekisenge ekyo ekyetoolodde ekibuga, kyali kizimbiddwa n'amayinja ag'omuwendo ennyo aga yasipero. Kyo ekibuga nga kya zaabu mwereere, atangalijja ng'ekirawuli.
19
Emisingi gy'ekisenge ekyetoolodde ekibuga gyali giyooyooteddwa n'amayinja ag'omuwendo ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n'amayinja aga yasipero, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kaludeedoni, ogwokuna aga simaragido,
20
ogwokutaano aga sandonikisi, ogw'omukaaga aga sarudiyo, ogw'omusanvu aga kirisolito, ogw'omunaana aga berulo, ogw'omwenda aga topazi, ogw'ekkumi aga kirusopuraso, ogw'ekkumi n'ogumu aga yakinto, ogw'ekkumi n'ebiri aga ametisto.
21
Ate emiryango ekkumi n'ebiri, gyali amayinja ag'omuwendo ennyo aga luulu kkumi n'abiri, nga buli mulyango gukoleddwa n'ejjinja lya luulu limu. Enguudo z'ekibuga ekyo nga zaabu mwereere, atangalijja ng'ekirawuli.
22
Mu kibuga ekyo ssaalabamu Ssinzizo, kubanga Mukama Katonda Omuyinzawaabyonna era n'Omwana gw'Endiga, bo ye Ssinzizo mu kyo.
23
Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba, wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw'Endiga ye ttaala yaakyo.
24
Abantu b'omu nsi yonna banaatambuliranga mu kitangaala kyakyo, ne bakabaka b'oku nsi ne baleeta ebyobugagga byabwe mu kyo.
25
Olunaku lwonna emiryango gyakyo tegiggalwenga n'akatono, kubanga eyo teriba kiro.
26
Ekitiibwa n'ebyobugagga eby'amawanga, birireetebwa mu kyo.
27
Naye tekiriyingirwamu kintu na kimu ekitali kirongoofu, wadde omuntu n'omu akola eby'ensonyi, oba alimba. Wabula abo bokka abaawandiikibwa mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'Endiga, be baliyingira mu kibuga ekyo.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22