bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 18
Revelation 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 19 →
1
Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba malayika omulala ng'akka ng'ava mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi. Ekitiibwa kye ne kimulisa ensi.
2
N'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Kigudde, Babilooni ekibuga ekinene kigudde! Kifuuse kisulo ky'emyoyo emibi; omukuŋŋaanira emyoyo emyonoonefu gyonna, lye kkuŋŋaaniro ly'ebinyonyi byonna ebibi era ebikyayibwa.
3
Amawanga gonna gaatamiira omwenge ogw'obwenzi bwakyo. Bakabaka b'oku nsi baayenda nakyo, n'abasuubuzi b'oku nsi baagaggawalira ku kwejalabya kwakyo okuyitiridde.”
4
Ate ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Abantu bange, mukiveemu, muleme okwetaba mu bibi byakyo n'okugabana ku bibonyoobonyo byakyo,
5
kubanga ebibi byakyo bituuse mu ggulu, ne Katonda ajjukidde ebyonoono byakyo.
6
Mukikole bye kyabakola. Ku bikolwa byakyo, mmwe musinzeewo emirundi ebiri. Ekikopo kye kyabatabulira mmwe mukikitabulire emirundi ebiri.
7
Gye kyakomya okwegulumiza n'okwejalabya, gye muba mukomya okukibonyaabonya n'okukikaabya, kubanga kyewaana nti: ‘Ntudde nga kabaka, siri nnamwandu era siribonaabona n'akatono.’
8
Ebibonyoobonyo byakyo: okufa, n'okunakuwala, n'enjala, kyebiriva bikijjira olunaku lumu era ne kyokebwa omuliro, kubanga Mukama Katonda akisalira omusango okukisinga, wa maanyi.”
9
Bakabaka b'oku nsi abaayendanga nakyo ne babeera wamu nakyo mu by'amasanyu, bwe baliraba omukka gwakyo nga kyokebwa, balikikaabira ne bakikungubagira.
10
Baliyimirira wala olw'okutya okubonaabona kwakyo, ne bagamba nti: “Zikusanze, zikusanze ggwe Babilooni ekibuga ekinene! Ggwe ekibuga eky'amaanyi, ozikiriziddwa mu ssaawa emu yokka!”
11
Abasuubuzi b'oku nsi nabo bakikaabira ne banakuwala, kubanga tewakyali agula bintu byabwe.
12
Tewakyali agula zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, n'ago agayitibwa luulu; engoye eŋŋonvu eza kakobe, n'eza liiri, n'emmyufu; na buli muti ogw'akawoowo, na buli kintu eky'essanga, na buli kintu eky'omuti ogw'omuwendo ennyo; n'eky'ekikomo, n'eky'ekyuma, n'eky'amayinja amalungi.
13
Era tewakyali agula bya kaloosa, n'ebirungo by'enva, n'obubaane, n'omuzigo ogw'akawoowo oguyitibwa mirra, n'envumbo; omwenge gw'emizabbibu, n'amafuta; obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, n'eŋŋaano; ente n'endiga, n'embalaasi n'ebigaali; abaddu n'abantu abanyagibwa mu lutalo.
14
Abasuubuzi balikigamba nti: “Ebirungi byonna bye weegombanga okufuna bikufudde, ebyobugagga byonna n'ebyekitiibwa bikuweddeko, era tokyaddayo kubirabako n'akatono.”
15
Abasuubuzi b'ebintu ebyo be kyagaggawaza, baliyimirira wala olw'okutya okubonaabona kwakyo, ne bakaaba era ne banakuwala,
16
ne bagamba nti: “Zikisanze, zikisanze ekibuga ekyo ekinene, ekyayambalanga engoye eŋŋonvu, eza kakobe n'emmyufu; ne kitimbibwa zaabu n'amayinja ag'omuwendo, n'ago agayitibwa luulu.
17
Kifiiriddwa obugagga obwo bwonna mu ssaawa emu yokka!” Abagoba b'amaato bonna, n'abasaabaze bonna, n'abalunnyanja, na bonna abasuubulira ku nnyanja, baayimirira wala
18
bwe baalaba omukka gwakyo nga kiggya, ne baleekaana nga bagamba nti: “Tewabangawo kibuga ekyenkana kino obunene!”
19
Ne beeyiira enfuufu mu mitwe, ne baleekaana nga bakaaba era nga bakungubaga, nga bagamba nti: “Zikisanze, zikisanze ekibuga ekinene era ekigagga ennyo, ekyagaggawalirwamu abalina amaato ku nnyanja. Kizikiriziddwa mu ssaawa emu yokka!
20
Ggwe eggulu sanyuka, kubanga kizikiriziddwa! Mmwe abantu ba Katonda, nammwe abatume n'abalanzi, musanyuke, kubanga Katonda akisalidde omusango ne gukisinga, olw'ebyo bye kyakola!”
21
Awo malayika ow'amaanyi n'asitula ejjinja eriri ng'olubengo olunene, n'alisuula mu nnyanja, ng'agamba nti: “Babilooni ekibuga ekinene bwe kirisuulibwa bwe kityo wansi n'amaanyi mangi, ne kitaddayo kulabibwa!
22
Ennyimba z'abakubi b'ennanga, n'ez'abayimbi, n'ez'abafuuyi b'endere n'ab'eŋŋombe, tebiriddayo kuwulirwa mu ggwe, tewaliba mugezi mu mulimu na gumu aliddayo kulabika mu ggwe, wadde eddoboozi ly'olubengo okuddayo okuwulirwa mu ggwe.
23
Ekitangaala ky'ettaala tekiriddayo kulabika mu ggwe, wadde eddoboozi ly'awasa omugole n'ery'omugole okuddayo okuwulirwa mu ggwe. Abasuubuzi bo baali bakulu nnyo mu nsi, era obulogo bwo bwalimbalimba amawanga gonna!”
24
Mu kyo omusaayi gw'abalanzi, n'ogw'abantu ba Katonda, n'ogwa bonna abattibwa ku nsi, mwe gwasangibwa.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22