bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 17
Revelation 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 18 →
1
Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya, n'ajja, n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Jjangu, nkulage omusango malaaya lukulwe gw'asaliddwa. Malaaya oyo kye kibuga ekyazimbibwa okumpi n'amazzi amangi.
2
Bakabaka b'ensi baayenda naye, n'abantu abali ku nsi ne batamiira omwenge gw'obwenzi bwe.”
3
Awo mu mwoyo, malayika n'antwala mu ddungu, ne ndaba omukazi ng'atudde ku kisolo ekimyufu, nga kijjudde amannya agavvoola Katonda, era nga kirina emitwe musanvu, n'amayembe kkumi.
4
Omukazi oyo yali ayambadde ebya kakobe n'ebimyufu, nga yeewoomezza ne zaabu, n'amayinja ag'omuwendo ennyo, n'ago ge bayita luulu, ng'akutte ebyenyinyalwa n'eby'obugwagwa eby'obwenzi bwe.
5
Mu kyenyi kye mwali muwandiikiddwamu erinnya ery'amakulu amakusike: “Babilooni ekibuga ekinene, nnyina wa bamalaaya n'ow'ebyenyinyalwa eby'oku nsi.”
6
Ne ndaba ng'omukazi oyo atamidde omusaayi gw'abantu ba Katonda, n'ogw'abo abattibwa olw'okukkiriza Yesu. Bwe namulaba, ne nneewuunya nnyo!
7
Malayika n'aŋŋamba nti: “Lwaki weewuunya? Ka nkubuulire ekyama ekifa ku mukazi oyo, ne ku kisolo ekimusitudde, ekirina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi.
8
Ekisolo ky'olabye kyaliwo, kati tekikyaliwo. Naye kinaatera okuva mu bunnya obutakoma, kigende kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi, amannya gaabwe nga tegaawandiikibwa mu kitabo kya bulamu okuva ensi lwe yatondebwawo, balyewuunya, bwe baliraba ng'ekisolo ekyaliwo, kati tekikyaliwo, ate nga kiriddamu okulabika.
9
“Kino kyetaaga amagezi n'okutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu, omukazi z'atuddeko,
10
era be bakabaka musanvu. Abataano ku bo baagwa, omu akyaliwo, omulala tannaba kujja. Era bw'alijja, aliteekwa okumalawo ekiseera kitono.
11
Ate ekisolo ekyaliwo, kati ekitakyaliwo, ekyo ye kabaka ow'omunaana, kyokka nga wa ku bali omusanvu, era agenda kuzikirizibwa.
12
“Amayembe ekkumi g'olabye, be bakabaka ekkumi, abatannaweebwa bwakabaka, naye bo n'ekisolo, baliweebwa obuyinza okufuga nga bakabaka, okumala essaawa emu.
13
Abo bassa kimu, ne bawa ekisolo amaanyi gaabwe n'obuyinza bwabwe.
14
Balirwanyisa Omwana gw'Endiga, kyokka Omwana gw'Endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w'abakama era ye Kabaka wa bakabaka. N'abagoberezi be, be yayita, be yalondamu era abeesigwa, baliwangula wamu naye.”
15
Malayika era n'aŋŋamba nti: “Amazzi g'olabye malaaya w'atudde, be bantu aba buli ngeri, n'aba buli kibiina, n'aba buli ggwanga, n'aba buli lulimi.
16
Amayembe, ekkumi g'olabye, go awamu n'ekisolo, birikyawa malaaya oyo, ne bimuleka yekka, ng'ali bwereere. Birirya omubiri gwe, ne bimwokera ddala,
17
kubanga Katonda yateeka mu mitima gyabyo okwagala okukola kye yateesa, ne bissa kimu, ne biwa ekisolo obwakabaka, okutuusa ebigambo bya Katonda lwe birituukirira.
18
Ate omukazi gwe walabye kye kibuga ekinene, ekifuga bakabaka b'ensi.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22