bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 13
Revelation 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 14 →
1
Awo ne ndaba ekisolo nga kiva mu nnyanja. Kyalina amayembe kkumi n'emitwe musanvu. Kyalina engule ku buli jjembe, ne ku mitwe gyakyo nga kuliko amannya agavvoola Katonda.
2
Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng'engo, ebigere byakyo nga biri ng'eby'eddubu, akamwa kaakyo nga kali ng'ak'empologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo, n'entebe yaagwo ey'obwakabaka, n'obuyinza bungi.
3
Ogumu ku mitwe gy'ekisolo gwali gulabika ng'ogufumitiddwa ekiwundu eky'okugutta. Naye ekiwundu ekyo eky'okugutta, ne kiwona. Ensi zonna ne zisigala nga zeewuunya ekisolo ekyo.
4
Abantu ne basinza ogusota, kubanga gwawa ekisolo obuyinza bwagwo. N'ekisolo ne bakisinza, nga bwe bagamba nti: “Ani yenkana ekisolo kino, era ani ayinza okulwana nakyo?”
5
Ekisolo ne kirekebwa okwogera eby'okwewaana n'okuvuma Katonda, era ne kikkirizibwa okuba n'obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
6
Ne kitandika okuvvoola Katonda, n'okwogera obubi ku linnya lye, ne ku kifo kye mw'abeera, ne kivuma n'ababeera mu ggulu.
7
Era ne kikkirizibwa okulwanyisa abantu ba Katonda n'okubawangula, era ne kiweebwa obuyinza ku bika byonna ne ku bantu bonna, ne ku nnimi zonna, ne ku mawanga gonna.
8
Abantu bonna abali ku nsi, kwe kugamba, abo okuva ensi lwe yatondebwa, abataawandiikibwa mannya gaabwe mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'Endiga eyattibwa, balisinza ekisolo ekyo.
9
Buli alina amatu awulire!
10
Buli eyategekerwa okutwalibwa mu busibe, wa kusiba. Buli eyategekerwa okuttibwa n'ekitala, wa kufa kitala. Awo okugumiikiriza n'okukkiriza kw'abantu ba Katonda we kutegeererwa.
11
Awo ne ndaba ekisolo ekirala nga kiva mu ttaka. Kyalina amayembe abiri ng'ag'omwana gw'endiga, era nga kyogera ng'ogusota.
12
Ne kikozesa obuyinza bwonna obw'ekisolo ekyasooka, nga n'ekyo kyennyini ekyasooka kiraba. Ne kiwaliriza ensi n'abagirimu, basinze ekisolo ekyasooka, ekyawona ekiwundu ekyali ekyokukitta.
13
Ekisolo kino ekyokubiri ne kikola ebyewuunyo. Ne kiragira omuliro ne guva mu ggulu, ne gukka ku nsi ng'abantu bonna balaba.
14
Ne kirimbalimba abantu abali ku nsi, nga kikozesa ebyewuunyo bye kyakkirizibwa okukolera mu maaso g'ekisolo ekyasooka. Ne kibalagira okukola ekifaananyi ky'ekisolo ekyo ekyafumitibwa ekitala naye ne kisigala nga kiramu.
15
Ekisolo kino ekyokubiri ne kikkirizibwa n'okussa omukka ogw'obulamu mu kifaananyi ekyo eky'ekisolo ekyasooka, ekifaananyi kyogere, era kissise bonna abagaana okukisinza.
16
Abantu bonna, abato n'abakulu, abagagga n'abaavu, ab'eddembe n'abaddu, ekisolo ne kibawaliriza okuteekebwako akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi.
17
Buli muntu n'agaanibwa okubaako ky'agula oba ky'atunda, okuggyako ng'amaze okuteekebwako akabonero ako, kwe kugamba, erinnya ly'ekisolo, oba ennamba etegeeza erinnya lyakyo.
18
Ekyo kyetaagisa amagezi! Ow'amagezi yeetegereze amakulu g'ennamba y'ekisolo ekyo, kubanga ye nnamba etegeeza erinnya ly'omuntu. Ennamba yaakyo eri lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22