bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 19
Revelation 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 20 →
1
Ebyo bwe byaggwa, ne mpulira mu ggulu eddoboozi eriri ng'ery'ekibiina ky'abantu ekinene, nga ligamba nti: “Mutendereze Katonda waffe, kubanga obulokozi, n'ekitiibwa n'obuyinza, bibye!
2
Ky'asalawo kituufu era kya bwenkanya. Asaze omusango, ne gusinga malaaya lukulwe, eyayonoona ensi n'obwamalaaya bwe. Malaaya oyo abonerezeddwa olw'okutta abaweereza ba Katonda.”
3
Era ne bagamba nti: “Mutendereze Katonda! Omukka ogukivaamu gunyooka emirembe n'emirembe!”
4
Abakadde amakumi abiri mu abana, n'ebiramu ebina, ne bavuunama ne basinza Katonda atudde ku ntebe ey'obwakabaka, nga bwe bagamba nti: “Amiina. Mutendereze Katonda!”
5
Era eddoboozi ne liva awali entebe ey'obwakabaka ne ligamba nti: “Mutendereze Katonda waffe mmwe mwenna abaweereza be, nammwe mwenna abato n'abakulu abamussaamu ekitiibwa.”
6
Ate ne mpulira eddoboozi eriri ng'ery'ekibiina ky'abantu ekinene, eriri ng'okuwuuma kw'amazzi amangi, era ng'okubwatuka kw'eggulu okw'amaanyi, nga ligamba nti: “Mutendereze Katonda, kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinzawaabyonna, ye afuga.
7
Tusanyuke, tujaguze tutendereze ekitiibwa kye, kubanga ekiseera eky'embaga y'obugole ey'Omwana gw'Endiga kituuse.
8
Akkiriziddwa okwambala engoye eŋŋonvu, ezitukula era ezitemagana.” Engoye ezo eŋŋonvu, bye bikolwa ebirungi eby'abantu ba Katonda.
9
Malayika n'aŋŋamba nti: “Wandiika nti: ‘Ba mukisa abayitiddwa ku mbaga ey'obugole ey'Omwana gw'Endiga.’ ” Era n'aŋŋamba nti: “Ebyo bigambo byennyini Katonda bye yayogera.”
10
Awo ne nfukamira kumpi ddala n'ebigere bye okumusinza. Kyokka n'aŋŋamba nti: “Leka! Ekyo tokikola! Ndi muweereza munno, era mpeerereza wamu ne baganda bo abanywerera ku mazima Yesu ge yatumanyisa. Sinza Katonda.” Kubanga amazima Yesu ge yatumanyisa, ge gawa abalanzi bye boogera.
11
Ne ndaba eggulu nga libikkuse, era ne ndaba embalaasi enjeru. Agyebagadde ayitibwa Mwesigwa era ow'amazima. Asala emisango era alwana entalo mu bwenkanya.
12
Amaaso ge gali ng'ennimi z'omuliro, era atikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe. Awandiikiddwako erinnya eritamanyiddwa muntu n'omu, okuggyako ye yekka.
13
Ayambadde ekyambalo ekyannyikibwa mu musaayi. Erinnya lye ye Kigambo wa Katonda.
14
Awo ab'eggye ery'omu ggulu ne bamugoberera, nga beebagadde embalaasi enjeru era nga bambadde engoye eŋŋonvu enjeru era ennyonjo.
15
Mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekyogi eky'okuwangula amawanga. Aligafugisa omuggo ogw'ekyuma, n'alinnya essogolero ly'omwenge gw'obusungu obungi obwa Katonda Omuyinzawaabyonna.
16
Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye, alina erinnya eriwandiikiddwako nti: KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W'ABAKAMA.
17
Awo ne ndaba malayika ng'ayimiridde ku njuba. N'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka ng'agamba ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga nti: “Mujje, mukuŋŋaane ku mbaga ennene Katonda gy'akoze,
18
mulye emirambo gya bakabaka, n'egy'abakulu b'amagye, n'egy'abaserikale, n'egy'embalaasi, n'egy'abazeebagala, n'egy'abantu bonna abaddu n'ab'eddembe, abakulu n'abato!”
19
Awo ne ndaba ekisolo, ne bakabaka b'oku nsi n'amagye gaabwe, nga bakuŋŋaanye okulwanyisa oyo eyeebagadde embalaasi, n'eggye lye.
20
Ekisolo ne kiwambibwa awamu n'omulanzi ow'obulimba, eyakola ebyewuunyo mu maaso gaakyo. Ebyewuunyo ebyo bye yalimbisanga abakkiriza okuteekebwako akabonero k'ekisolo, era abaasinza ekifaananyi kyakyo. Ekisolo ekyo n'omulanzi ow'obulimba, bombi ne basuulibwa mu nnyanja ey'omuliro ogwaka ennyo.
21
Abaasigalawo ne battibwa n'ekitala ekyava mu kamwa k'oyo eyeebagadde embalaasi. Ebinyonyi byonna ne byekkutira emirambo gyabwe.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22