bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 8
Revelation 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 9 →
1
Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero ak'omusanvu, ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu okumala nga kitundu kya ssaawa.
2
Ne ndaba bamalayika musanvu abayimirira mu maaso ga Katonda, ne baweebwa eŋŋombe musanvu.
3
Ne malayika omulala n'ajja, n'ayimirira mu maaso g'ekyoto, ng'alina ekyoterezo ekya zaabu. N'aweebwa obubaane bungi abuweerereze wamu n'essaala z'abantu ba Katonda bonna, ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso g'entebe ya Katonda.
4
Omukka gw'obubaane, awamu n'essaala z'abantu ba Katonda, ne biva mu ngalo za malayika, ne byambuka mu maaso ga Katonda.
5
Malayika oyo n'atwala ekyoterezo ekyo, n'akijjuza omuliro, ng'aguggya mu kyoto, n'akisuula ku nsi. Ne wabaawo okubwatuka, n'okuwuuma, n'okukankana kw'ensi.
6
Awo bamalayika omusanvu abaalina eŋŋombe omusanvu, ne bateekateeka okuzifuuwa.
7
Malayika asooka n'afuuwa eŋŋombe ye, ne wabaawo omuzira n'omuliro nga bitabuddwa n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi. Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ensi ne kiggya, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'emiti, na buli muddo omubisi, ne biggya.
8
Ne malayika owookubiri n'afuuwa eŋŋombe ye. Ekintu ekiri ng'olusozi olunene olwaka omuliro, ne kisuulibwa mu nnyanja. Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ennyanja ne kifuuka omusaayi,
9
n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ebitonde eby'omu nnyanja ne kifa, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'amaato aga buli ngeri ne kizikirira.
10
Malayika owookusatu n'afuuwa eŋŋombe ye. Emmunyeenye ennene n'eva ku ggulu, ng'eyaka ng'omumuli, n'egwa ku kitundu ekimu ekyokusatu eky'emigga ne mu nzizi z'amazzi.
11
Erinnya ly'emmunyeenye eyo nga ye Kakaayira. Abantu bangi ne bafa olw'okunywa amazzi ago kubanga gaafuulibwa agakaawa.
12
Malayika owookuna n'afuuwa eŋŋombe ye. Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'enjuba, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'omwezi, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'emmunyeenye ne bikubibwa, ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ekitangaala kyabyo ne kizikira. Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'olunaku ne kitaba na kitangaala, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ekiro nakyo bwe kityo.
13
Bwe natunula, ne mpulira empungu ebuukira waggulu mu bbanga ng'eyogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Akabi! Akabi! Akabi kajja kugwira abali ku nsi, eŋŋombe endala bwe zinaavuga, bamalayika abasatu ze bagenda okufuuwa!”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22