bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 22
Revelation 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
1
Awo malayika n'andaga omugga gw'amazzi ag'obulamu, ogumasamasa ng'endabirwamu, oguva ku ntebe ey'obwakabaka eya Katonda era ey'Omwana gw'Endiga,
2
ne gukulukutira wakati w'enguudo z'ekibuga ekyo. Eruuyi n'eruuyi w'omugga ogwo, waaliwo omuti ogw'obulamu, ogubala ebibala emirundi kkumi n'ebiri omwaka, nga gubala buli mwezi; amakoola gaagwo nga ga kuwonya amawanga.
3
Eyo teribaayo nate kikolimo. Entebe ey'obwakabaka eya Katonda era ey'Omwana gw'Endiga, eneebeeranga omwo, era abaweereza ba Katonda banaamusinzanga.
4
Banaalabanga amaaso ge, era erinnya lye linaabeeranga mu byenyi byabwe.
5
Ekiro tekiriddayo kubaawo, era tebalyetaaga kitangaala kya ttaala, wadde eky'enjuba, kubanga Mukama Katonda ye anaabeeranga ekitangaala kyabwe, era banaafuganga emirembe n'emirembe.
6
Awo malayika n'aŋŋamba nti: “Ebigambo bino bituufu ddala, era bya mazima. Era Mukama Katonda awa abalanzi Mwoyo we, atumye malayika we, okulaga abaweereza be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”
7
“Laba, njija mangu. Wa mukisa oyo akwata ebigambo eby'obulanzi ebiri mu kitabo kino.”
8
Nze Yowanne, nze nawulira era ne ndaba bino. Bwe namala okubiwulira n'okubiraba, ne nvuunama okumpi n'ebigere bya malayika eyandaga bino.
9
Ye n'aŋŋamba nti: “Leka! Ekyo tokikola! Ndi muweereza munno, era mpeerereza wamu ne baganda bo abalanzi era n'abo abakwata ebigambo ebiri mu kitabo kino. Sinza Katonda.”
10
Era n'aŋŋamba nti: “Ebigambo by'obulanzi ebiri mu kitabo kino tobikuuma mu kyama, kubanga ekiseera kiri kumpi, bibeewo.
11
Naye nga tebinnabaawo, omwonoonyi k'ayongere okwonoona, omugwagwa asigale nga mugwagwa, akola ebituufu ayongere okukola ebituufu, n'omutuukirivu asigale nga mutuukirivu.”
12
“Laba, njija mangu. Ndijja n'empeera nsasule buli omu, nga nsinziira ku bye yakola.
13
Nze Alufa ne Omega, ow'olubereberye, era asembayo: entandikwa n'enkomerero.”
14
Ba mukisa abo abooza ebyambalo byabwe, balyoke bakkirizibwe ku muti ogw'obulamu, era bayingire mu kibuga, nga bayita mu miryango.
15
Naye abo aboonoonefu, n'abalogo, n'abenzi, n'abassi b'abantu, n'abasinza ebyo ebitali Katonda, n'abo bonna abaagala era abakola eby'obulimba, balibeera bweru.
16
“Nze Yesu, ntumye malayika wange okubategeeza mmwe ab'omu bibiina by'abakkiriza mu nze. Ndi muzzukulu wa Dawudi, era nsibuka mu ye. Nze mmunyeenye ey'oku makya, eyakaayakana.”
17
Mwoyo n'Omugole bagamba nti: “Jjangu, Mukama waffe Yesu.” Era buli awulira bino agambe nti: “Jjangu, Mukama waffe Yesu.” Buli alumwa ennyonta ajje, era buli ayagala amazzi agawa obulamu, akkirize okugafuna awatali kusasula.
18
Ntegeeza buli awulira ebigambo by'obulanzi ebiri mu kitabo kino nti: alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
19
Era buli alikendeeza ku bigambo by'obulanzi ebiri mu kitabo kino, Katonda alimuggyako omugabo gwe ogw'ebibala by'omuti oguwa obulamu, n'ogw'omu kibuga ekitukuvu, ebyogerwako mu kitabo kino.
20
Akakasa bino, agamba nti: “Weewaawo, njija mangu.” Ka kibe bwe kityo. Jjangu Mukama waffe Yesu.
21
Mukama waffe Yesu akwatirwe ekisa abantu ba Katonda bonna. Amiina.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22