bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 9
Revelation 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 10 →
1
Awo malayika owookutaano n'afuuwa eŋŋombe ye. Ne ndaba emmunyeenye eyali yava waggulu n'egwa wansi, n'eweebwa ekisumuluzo ekiggula obunnya obutakoma.
2
Emmunyeenye eyo n'eggulawo obunnya obutakoma. Mu bunnya obwo ne muvaamu omukka ng'oguva mu nkoomi ennene, enjuba n'ebbanga ne bikwata ekizikiza olw'omukka ogwo ogwava mu bunnya.
3
Mu mukka ogwo ne muvaamu enzige, ne zijja ku nsi, era ne ziweebwa obuyinza, ng'obwo obw'enjaba ez'obusagwa ez'oku nsi ze bulina.
4
Enzige ezo ne zigaanibwa okwonoona omuddo, oba emiti, wadde ebimera ebirala, wabula okubonyaabonya abantu abo bokka abatalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe.
5
Kyokka ne zitakkirizibwa kubatta, wabula okubabonyaabonyeza emyezi etaano. Obulumi omuntu bw'awulira nga zimulumye, nga buli ng'obw'oyo alumiddwa enjaba ey'obusagwa.
6
Mu nnaku ezo abantu balinoonya olumbe lubatte, ne batalulaba, balyegomba okufa, naye kulibadduka.
7
Mu ndabika, enzige ezo zaali zifaanana ng'embalaasi ezitegekeddwa olw'olutalo. Ku mitwe gyazo nga kuliko ebifaanana ng'engule eza zaabu, n'amaaso gaazo nga gafaanana ng'ag'abantu.
8
Obwoya bwazo bwali bufaanana ng'enviiri z'abakazi, amannyo gaazo nga gafaanana ng'ag'empologoma.
9
Ebifuba byazo byali bibikkiddwako ebintu ebiri ng'engabo ez'ekyuma. Okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byazo kwali ng'okw'amagaali amangi, agasikibwa embalaasi ezifubutuka okugenda ku lutalo.
10
Zaalina emikira ng'egy'enjaba ez'obusagwa, nga giriko n'enkato, era ng'amaanyi gaazo ag'okubonyaabonya abantu okumala emyezi etaano, gali mu mikira gyazo egyo.
11
Zaalina kabaka waazo azifuga, nga ye malayika w'obunnya obutakoma. Erinnya lye mu Lwebureeyi ye Abaddoni, mu Luyonaani Apoliyoni, eritegeeza Nnamuzisa.
12
Ekikangabwa ekisooka ne kiggwa, ate ng'ekyaliyo ebikangabwa ebirala bibiri ebijja.
13
Awo malayika ow'omukaaga n'afuuwa eŋŋombe ye. Ne mpulira eddoboozi eriva mu nsonda ennya ez'ekyoto ekya zaabu, ekiri mu maaso ga Katonda.
14
Eddoboozi eryo ne ligamba malayika ow'omukaaga, eyalina eŋŋombe nti: “Sumulula bamalayika abana abasibiddwa ku mugga omunene Ewufuraate.”
15
Awo bamalayika abana ne basumululwa. Baali nga baategekerwa dda essaawa eyo, n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okutta ekitundu ekimu ekyokusatu eky'abantu.
16
Ne mpulira omuwendo ogw'eggye ery'abeebagadde embalaasi: baali omutwalo gumu emirundi ebiri, emirundi omutwalo gumu.
17
Era mu kulabikirwa kuno, ne ndaba embalaasi n'abazeebagadde, nga bambadde mu bifuba ebintu ebyengeredde ng'omuliro, ebya bbululu, n'ebya kyenvu. Emitwe gy'embalaasi ezo gyali ng'egy'empologoma, mu kamwa kaazo nga muvaamu omuliro, n'omukka, n'ensasi z'omuliro.
18
Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'abantu ne kittibwa ebibonyoobonyo bino ebisatu: omuliro, n'omukka, n'ensasi z'omuliro, ebyavanga mu kamwa k'embalaasi ezo,
19
kubanga obuyinza bw'embalaasi ezo bwali mu kamwa kaazo ne mu mikira gyazo. Emikira gyazo gyali ng'emisota egirina emitwe, era emitwe egyo nga gye zirumisa.
20
Abantu abalala abaasigalawo, abatattibwa mu bibonyoobonyo bino, tebeenenya ebyo bye baakolanga, era tebaalekayo kusinza emyoyo emibi n'ebifaananyi ebya zaabu, n'ebya ffeeza, n'eby'ekikomo, n'eby'amayinja, n'eby'emiti, ebitayinza kulaba, oba okuwulira, wadde okutambula.
21
Era tebeenenya butemu bwabwe, n'obulogo bwabwe, n'obwenzi bwabwe, era n'obubbi bwabwe.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22