bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 12
Revelation 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 13 →
1
Ekyewuunyisa ne kirabika ku ggulu: ne wabaawo omukazi ng'ayambadde enjuba, ate ng'omwezi guli wansi w'ebigere bye, ku mutwe gwe nga kuliko engule ya mmunyeenye kkumi na bbiri.
2
Yali lubuto, ng'alumwa, n'aleekaana mu bulumi obw'okuzaala.
3
Ekyewuunyisa ekirala ne kirabika ku ggulu: ne wabaawo ogusota ogunene ogumyufu, nga gulina emitwe musanvu, n'amayembe kkumi, nga ku buli mutwe kuliko engule.
4
Omukira gwagwo ne guwalula ekitundu ekimu ekyokusatu eky'emmunyeenye ez'oku ggulu, ne gukisuula ku nsi. Ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi eyali okumpi okuzaala, gulyoke gumire omwana we.
5
Omukazi n'azaala omwana ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna, ng'akozesa omuggo ogw'ekyuma. Kyokka omwana we n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka.
6
Awo omukazi n'addukira mu ddungu, mu kifo ekyateekebwateekebwa Katonda, omukazi oyo bamuliisize eyo, okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga.
7
Olwo ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayeli ne bamalayika be ne balwanyisa ogusota. Ogusota nagwo ne gubalwanyisa ne bamalayika baagwo.
8
Naye ogusota ne guwangulwa. Gwo ne bamalayika baagwo, ne batakkirizibwa kwongera kusigala mu ggulu.
9
Ogusota ogwo ogunene, gwe musota ogw'edda oguyitibwa Omubi era Sitaani alimbalimba ensi zonna, ne gusuulibwa ku nsi, awamu ne bamalayika baagwo.
10
Ne mpulira mu ggulu eddoboozi ery'omwanguka, erigamba nti: “Kaakano Katonda waffe atulokodde. Alaze amaanyi ge, n'obwakabaka bwe, n'obuyinza bwa Kristo we, kubanga oyo alonkoma baganda baffe, n'abaloopa emisana n'ekiro mu maaso ga Katonda waffe, agobeddwa mu ggulu.
11
Baganda baffe baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'Endiga, n'olw'amazima, ge baategeeza abantu, ne bawaayo obulamu bwabwe okutuuka ne ku kufa.
12
Kale musanyuke mmwe eggulu n'abalirimu. Naye mmwe ensi n'ennyanja, zibasanze, kubanga Sitaani asse gye muli ng'alina obusungu bungi, ng'amanyi nti alina akaseera katono!”
13
Ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi, ne guyigganya omukazi eyazaala omwana ow'obulenzi.
14
Omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby'empungu ennene, alyoke abuuke atuuke mu kifo kye mu ddungu, gy'alirabirirwa okumala emyaka esatu n'ekitundu ng'ogusota tegumutuukako.
15
Omusota ne guwandula amazzi okuva mu kamwa kaagwo, nga gali ng'omugga, ne gagoberera omukazi, gamukulugguse.
16
Naye ensi n'eyamba omukazi: n'eyasamya akamwa kaayo, n'emira omugga ogwava mu kamwa k'ogusota.
17
Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwanyisa ab'omu zadde lye abaasigalawo, abo bonna abakwata ebiragiro bya Katonda ne banywerera ku ebyo Yesu bye yabategeeza.
18
Awo ogusota ne guyimirira ku lubalama lw'Ennyanja.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22